Aba Baptist Union bakukolagana n’Obwakabaka okutumbula embeera z’abantu

Amawulire Mar 07, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Bulange – Mmengo

Abakulembeze ‘Baptist Church in Central Africa’ nga bayita mu ttabi lyabwe mu ggwanga li  Baptist Union of Uganda bakiise Embuga nebeeyama okukolagana n’Obwakabaka okutumbula embeera z’abantu.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano era Minisita w’ Abagenyi, Owek. Noah Kiyimba yabasisinkanye kulwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga.

Minisita Kiyimba asinzidde wano nategeeza nti Obwakabaka bwaniriza buli nzikiriza yonna era bwetegefu okukolagana nabo ku nsonga ezenjawulo kasita baba nga bassa ekitiibwa mu Nnamulondo.

 Owek. Kiyimba abeebaziza okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka naddala mu Gombolola ya Makindye Ssaabagabo ekkanisa yabwe gyesangibwa.

Akulembeddemu abagenyi bano era kalabalaba w’Ekkanisa eno mu Uganda, Rev. Ali Mwamba Colin agamba nti baagadde okugunjaawo enkolagana wakati wabwe ne Buganda ku nsonga ez’enjawulo naddala ezekuusa ku nkulaakulana y’abantu okuli eby’obulamu, eby’enjigiriza n’ebirala bingi nnyo.

Rev. Mwamba yeebazizza Obwakabaka olw’okusitukiramu mu kaweefube w’okukulaakulanya abantu babwo nga bayita mu nteekateeka nga Mwanyi Terimba, ensisiira z’ebyobulamu nga kino kiyambyeko abantu okulwana okwejja mu bwaavu.

LANGUAGE