Abakulembeze muwummuleeko, tusobole okukulaakulanya Ensi yaffe – Owek. Waggwa Nsibirwa

Amawulire May 01, 2026
Share This

Bya Miiro Shafik

Kalanamu – Bulemeezi

Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng’ono ye Mumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda akubirizza abakulembeze bulijjo okufunangayo ekiseera bawummuleko kibayambe okwezza obuggya n’okutumbula obuweereza obulungi mu mirimu gyabwe.

Owek. Nsibirwa okwogera bino asinzidde Kalanamu, Bamunaanika mu Bulemeezi gy’atemye evvuunike ku kifo ekituumiddwa ‘Leaders’ Oasis’ nga kino kigenda kuteekebwateebwa okuwummuliramu abakulembeze ab’emitendera gyonna nga basobola n’okutegekayo ensirika, obubaga n’enteekateeka endala. Ekifo kitandikiddwawo aba Civ Source Africa ne Civ LEGACY ebibiina ebiteeka essira mu kubangula abakulembeze, n’okukyusa endaba y’ebintu, abantu gye balina ku Ssemazinga Africa.

“Emirundi egisinga mu maka gaffe ne gye tuwangaalira, obuzibu bwe tulina kwe kuba n’obukulembeze obw’ekiboggwe, obukulembeze obutwala ebifo ng’ebyokufuna ensimbi naye nga tebitwaliddwa nga obuweereza oba obuvunanyizibwa, kyokka ate mu bukulembeze eriyo n’abo abeewaayo ne bakola nnyo obuteebalira olumu ne batuuka n’okufuna obuzibu mu bwongo ne mu mubiri kubanga tebagenze kuwummulako na kukakkanako” Owek. Waggwa.

Owek. Nsibirwa agamba nti omuntu yenna mu bulamu, ateekwa okufunayo ekiseera okuwummulamu, okwezza obuggya awatali kimutawanya kyonna, agamba nti omuntu bw’atawummuzza bwongo n’omubiri gufuna ebizibu. Wano w’asinzidde okwebaza aba Civ Source Africa olw’ekirowoozo ky’okutandika ekifo abakulembeze gye basobola okugenda ne beddaabulula olwo ne baddayo okuweereza nga bafunye amaanyi amapya.

“Mbeebaza okuggulawo ekifo kino mu Bulemeezi, tulina essuubi nti abakulembeze bwe banaawangayo obudde okuwummulako bajja kwongera okuweereza mu ngeri esinga okubeera ennungi okukyusa embeera y’eggwanga lyaffe”, Owek. Nsibirwa akunze abantu bonna naddala abawagira obukulembeze obuluŋŋamu okuwagira ekifo kino okulaba nti kikula era kiganyule abakulembeze n’eggwanga okutwaliza awamu. Ono asuubizza okubaako obudduukirize bw’awa eri omulimu guno n’okukunga abantu b’amaanyi abasobola okuwagira omulimu guno.

Jackline Asiimye, akulira ekitongole ki Civ Source Africa ategeezeza nti okwolesebwa kwabwe okusinga obukulu, kwe kuyamba abakulembeze okulaba nti bakulembera bulungi era nga batuusa obuweereza obulungi eri abo be bakulembera.

“Omukulembeze omulungi alina okuba nga yefaako, kubanga omukulembeze ateefaako ne byakola bibeera tebituukiridde bulungi, bwe twawuliriza abakulembeze ab’enjawulo, twakizuula nti obukulembeze buzito, era bwetaagisa omuntu okubaako ne w’awummuliza ebirowoozo, okukomyawo emmeeme zaabwe, era kwe kutandikawo ekifo kino kye tutuumye “Leaders’ Oasis’ abakulembeze ab’engeri zonna we basobola okujja, okubudaabudibwa olwo baddeyo bakulembere bulungi ebitongole, amaka, eggwanga n’emitendera emirala” Asiimwe.

Ye Dr. James Kyeyune Mbabaali ng’ono ye muwanika w’Essaza Bulemeezi era akiikiridde Kkangaawo Dr. Ronald Mulondo mu nteekateeka eno agamba nti mukisa munene nnyo eri essaza Bulemeezi okufuna enkulaakulana ey’engeri eno, era asuubizza nti bajja kuwaayo obuwagizi ng’Essaza ekifo kino okukula kituukirize ensonga ekitandisizzaawo ey’okuteeteeka abakulembeze mu birowoozo ne mu bikolwa. Ono yebazizza abatandisi b’ekifo olw’okufaayo ennyo okukuuma obutonde bwe baleseewo emiti n’ebimera eby’enjawulo ate nabo ne bagattako.

Dr. Kyeyune agamba nti ebifo ebisirifu, ebyekusifu era nga birimu obutonde obulungi bikendedde mu Uganda, kyokka kino ekiteekebwateekrbwa mu Bulemeezi kyongera enkizo mu Ssaza, okuganyula abantu ba Kabaka mu Ssaza lino ate n’abantu ba Buganda bonna. Ono akoowodde abantu okuwagira omulimu guno ogitandikiddwako.

Owek. Nsibirwa nga tannatema vvuunike mu kifo kino, asoose kusimbula abantu okuva mu bitongole eby’enjawulo ababaddewo mu nteekateeka eno, abasimbudde okutambula n’okulambula ekibira n’obutonde obuli mu kifo kino era wano akulebeddwamu Mw. Muteesaasira Leonard nannyini ttaka okutudde enkulaakulana okuli n’ekifo The Great Doors okuli wooteeri, ebifo ebisulwamu, ebyokwewummulizaamu n’ebirala, era yebazizza enkulaakulana eteereddwa mu kifo kino.

LANGUAGE