Amasomero ga Nnassale mu Buganda

Amawulire Sep 18, 2025
Share This
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko mu gomesi, ng’asisinkanye ba mmemba ba Bboodi z’amasomero ga Nnassale za Buganda

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo – Bulange

Obwakabaka bwakuggulawo amasomero g’abaana abato amalala mu masaza gonna.

Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu era avunanyizibwa ku woofiisi ya Maama Nnaabagereka Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko asisinkanye ba Ssenkulu ba Bboodi z’amasomero g’abaana abato mu Bwakabaka.

Minisita Nakate asinzidde ku Mbuga ya Bulange n’ategeeza nti Obwakabaka bwawandiikidde amasaza gonna agakyalina ebifo ebirala ewasobola okuteekebwa amasomero g’abaana abato gawandiikire Obwakabaka gaweebwe amasomero amalala.

Owek. Chotilda agamba nti abaana bwe batasoma, Obwakabaka buba bwereetedde obuzibu okukonzibya omugigi mu nkulaakulana n’obutamanya mu bisera eby’omumaaso.

Ye Omukwanaganya w’Ebyenjigiriza mu Minisitule y’Enkulakulaana y’Abantu Omuk. Dr. Leticia Nakimuli akubirizza ba ssenkulu bano okukola ekisoboka okunyonyola abazadde omulimu ogukoleddwa Obwakabaka ogw’okusembeeza amasomero gano agasookerwako mu bitundu byabwe basobole okubawa abayizi.

Ssenkulu wa Lubiri High School- Buloba Campus Omuk. Gitta Amos, nga yabadde omusomesa omukulu mu nsisinkano eno, ayigirizza ku nsonga y’obukulembeze engeri gy’egenda okutambulamu mu masomero gano agakatandikawo, eby’ebyensimbi, enkwata y’abakozi n’ebirala.

LANGUAGE