Kaggo Matovu Atandise Okulambula Eggombolola
Bya Ssaava Kanyike
Kyaddondo
Omwami w’Essaza Kyaddondo, Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu attukizza okulambula eggombolola okumanya emirimu abantu ba kabaka gye bakola mu ma ggombolola wamu n’okubatuusako amawulire agafa Embuga.
Owek. Magandaazi asookedde mu ggombolola ya Mutuba I Nangabo era alambudde eddwaliro ly’e Ggombolola erizimbwa eriyitibwa “Nangabo Mutuba I health center III. Alambudde essomero lya Nangabo Vocational , Kabubbu Development Project nga eno alambuziddwa Kabubbu Resort, Kabubbu Community Primary School, kabubbu healthy center ne Trust High School.
Kaggo atuseeko ne Ku ddwaliro lya Peoples Medical Hospital Gayaza era wano Dr Frank Ndugga akulira eby’obulamu Ssaza Kyaddondo era nga ye mutandisi w’eddwaliro lino alimulambuza n’amutegeeza nti kati bamaze okufuna ebyuma eby’omulembe ebikebera buli bulwadde kwossa abakuggu abajjanjaba eddwadde ezenjawulo.

Kaggo yebaziza nnyo abantu ba Kabaka okubeera abakozi , asabye baana b’amasomero yonna gy’atuuse okubeera abawulize eri bazadde baabwe ate basome nnyo kubanga Eggwanga lyetaaga bayizi ate n’obutasoma omuntu bumuluma akuze.
Banna Gomba bakungiddwa okweyiwa e Wankulukuku okweddiza obuwanguziOct 21, 2026
Ensimbi Obukadde 133 Ze Zireeteddwa Abantu Ba Kabaka Mu Nkola Ya Luwalo LwaffeOct 20, 2026
Olukiiko lw’essaza Buweekula lubanguddwa ku nkubiriza y’olukiiko olugwa mu nteekateeka y’Obwakabaka entuufuOct 20, 2026



