Ttabamiruka wa Buganda Bumu mu Buwalabu

Amawulire Sep 18, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Dubai – UAE

Obwakabaka bwa Buganda bwatandikawo enkola eya bantu ba Buganda ababeera ebweru wa Uganda okusisinkananga buli luvannyuma lwa myaka ebiri era eno yatuumibwa “Ttabamiruka wa Buganda Bumu”.

Eyasooka yatongozebwa mu America ne kuddako owa Europe, South Africa, kati n’owa Arab and Asia.Katikkiro Charles Peter Mayiga n’Abaami ba Kabaka ab’enjawulo baasitula okuva mu Uganda nga 12 okutuuka nga 17, okugenda okwetaba mu ttabamiruka ono n’okumutongoza ku Sheraton Creek Hotel – Dubai, era ne babeerako n’emirimu emirala gye benyigiramu mu ggwanga eryo erya United Arab Emirates.

Ssaabasajja Kabaka yasiima n’aweereza obubaka mu kuggulwawo kwa ttabamiruka ono, obwasomebwa Katikkiro, era mu bbwo, yakubiriza abantu be ababeera ebweru wa Buganda okubaako bye bayiga ku mawanga gye bali ebinaabayamba okwekulaakulanya ng’abantu ssekinoomu n’okukuza Obwakabaka ne Uganda okutwaliza awamu.

“Kisaana kitegeerekeke bulungi nti Ensi yaffe nnungi ddala era yeegombesa, ensonga yonna eyinza okuggya omuntu ewaffe okusenga ku mawanga kuba kuluubirira kweggya mu nvuba ya bwavu ng’aluubirira okwekulaakulanya” Kabaka Mutebi II.

Katikkiro Mayiga ng’asinziira mu ttabamiruka ono yasaba abantu ba Buganda ababeera mu mawanga gano ag’ebweru okweyisa obulungi n’okugoberera amateeka ag’eyo baleme kusiiga kifaananyi kibi ku ggwanga lyabwe ekiyinza okufiiriza abalala omukisa okugenda okukolerayo. Ono era yabasaba okukoppa ebintu eby’enkizo ebiyambye amawanga gano okwekulaakulanya nabo babisse mu nkola basobole okwesitula.

Mu ttabamiruka ono, Katikkiro y’atuusizza Omumyuka w’Omubaka atwala essaza lino, era ng’ono ye Muky. Faridah Mukasa Kibirige.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka bwa Buganda Owek. Joseph Kawuki yasaba Bannayuganda abali mu Buwalabu okwenyigira obutereevu mu nteekateeka z’Obwakabaka nabo bateeke ettofaali ku kaweefube w’okuzza Buganda ku Ntikko, era n’abasaba okwewala abababuzaabuza nga boogerera Obwakabaka ebitali bituufu n’abakubiriza bulijjo okugobereranga emikutu gy’Obwakabaka emitongole.

Omubaka wa Kabaka mu Buwalabu, Owek. Sheikh Abbas Nsubuga mu bubaka bwe yategeeza nti Federo y’esobozesezza Eggwanga lya United Arab Emirates okukulaakulana, ono ng’akikaatiriza nti singa enfuga eno ekozesebwa mu Uganda nga buli kitundu kyekolera ku nsonga zaakyo, enkulaakulana ejja kutuukibwako mu Uganda.

Oluvannyuma lwa ttabamiruka, Katikkiro ne Baminisita ba Kabaka baliko Abakungu mu Gavumenti ya United Arab Emirates be basisinkanye okuli; Minisita w’Ebyobulambuzi n’Ebyenfuna Mohamed Khalifa Al Mubarak, Minisita Omubeezi ow’obusuubuzi n’obusizi bw’ensimbi mu Ssaza lya Sharjah Sheikh Majid Faisal Al Qassimi, n’atuukako ku Dubai National Chamber of Commerce ne ku kkampuni ezimba amayumba ku kibanja mpola emanyiddwa nga Fakhruddin esangibwa e Dubai.

Kamalabyonna yategeezezza nti ensisinkano n’abantu bano ab’enkizo mu Gavumenti ya UAE, zigendererwamu okusakira Obwakabaka emikisa egy’enjawulo, emikago n’amagezi ag’enjawulo agasobola okugatta ku nkulaakulana ya Buganda n’okukyusa embeera z’abantu.

Baminisita; Owek. Hajj. Amisi Kakomo y’asisinkanye aba kkampuni ya Neural Farms abatadde essira ku nnima ey’omulembe ekulembezza tekinologiya, ate Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga y’asisinkanye Omw. Essa Abdullah Al Ghurair ono alina kkampuni esunsula emmwanyi n’okukola kaawa. Bino byonna biruubirirwa okutandikawo enkolagana n’Obwakabaka okulaba nti abantu baganyulwa mu nkulaakulana eri mu Nsi za Buwalabu.

Ttabamiruka wa Buganda Bumu mu Buwalabu ‘Buganda Bumu Arab and Asia Convention – BBAAC’ y’asookedde ddala era aluubirira okunyweza obumu mu bantu ba Buganda abali mu Buwalabu, okubanyisa ebifa eka n’okufuba okulaba nti tebeerabira buwangwa n’ennono zaabwe.” Katikkiro Mayiga

LANGUAGE