Bya Miiro Shafik
Mbarara
“Ku ssemazinga wa Africa mKatikkiro Mayiga avumiridde abakozesa amawanga okwawulayawula mu bantu, akubirizza Bannayuganda buli omu okwenyumiriza mu buwangwa bweu myaka gino nga 20, 30 egiyise, waliwo ekiwenda eky’okuttukiza oba okuzuukusa obuwangwa bwaffe kubanga abeeru bwe bajja baakikola kagenderere okutusuuza ebyaffe basobole okutuwamba mu bwongo, buli kyebasanga ku ssemazinga ono baakittatana tubeere nga tetukyalina mirandira bbo batukwase ekkubo lye baagala batunyunyute batutwaleko ebyobugagga, tebajja kutugunjula, twali bagunjufu naye obugunjufu bwaffe bwali ku mutendera mulala okwawukana n’ogwabeeru” Katikkiro Mayiga.
Owek. Mayiga agamba nti olwokuba mu bulaaya baalina ebibasomooza bingi nga omuzira n’omusana oguyitiridde mu biseera ebyenjawulo, baakuza mangu tekinologiya basobole okuyita mu mbeera eno, olwo bakira Africa mu kukulira ku misinde mu bya tekinologiya. Aggasseeko nti mu Africa n’amawulire gaali gatambula kitono nga obuyiiya nga okuweesa oba okukomaga ababimanyi ba lubatu, kyokka mu beeru amawulire gaatambula nga mangu nga beeyambisa embalasi n’ebirala ne kibasobozesa okwekulaakulanya amangu ne basobola n’okuwamba Africa, Asia n’awalala.
Katikkiro bino abyogeredde Mbarara ku Mbarara School of Science and Technology gy’asisinkanidde Bannankobazambogo ng’abasinga basoma ssaayansi. Eno gy’ategeerezza nti mu kiseera kino abaddugavu balabuse era balina okwevumbula okuddamu okuzuukusa ebyobuwangwa bwabwe.

“Omuntu omuyigirize mu kyasa kino ekya 21 atamanyi buwangwa bwe, abeera ng’ekyennyanja ekitasobola kuwuga, obuyigirize kwe kutegeera ebyo ebikwetoolodde, ssi kwogera lungereza wabula okutegeera ebikwetoolodde nga bino bwe buwangwa kubanga ye mbeera oba enneeyisa yaffe eya buli lunaku” Kamalabyonna Mayiga.
Mayiga agamba nti kikwasa ennaku okusanga eyeyita omuyivu nga tamanyi nti abantu abeddira omuziro ogumu tebawasangana, agamba omuntu ayitibwa atuukiridde, ateekwa okuba omuyigirize, ng’alina obukugu obw’enjawulo, “tteebereza nga oli musawo mukugu naye nga tomanyi kufumba, tosobola kugolola ssaati”, Mayiga annyonnyola nti omuntu atuukiridde ateekwa okumanya ensibuko ye, nga kino kitegeeza kumanya buwangwa bwe. Ategeezezza nti oyo eyegatta ku Nkobazambogo afuna omukisa okutegeera eggwanga lye n’obuwangwa bwalyo, era kino tekitematema mu ggwanga naakatono.

“Uganda eringa ekinyonyi kye bayita muzinge, ekimu ku binyonyi ebisinga okulabika obulungi olwa langi ze kirina ez’enjawulo, bwe muba mwagala Uganda efuukire ddala eddulu lya Africa, omunankole ateekwa okweyagalira mu kubeera omunankole, omukiga ne yeyagalira mu kubeera omukiga, omusoga, omuganda oba omugisu nabo batyo, ekyo tekitwawula kubanga era tetusoboola kufuukawo kireebereebe, era oli ayagala okugatta Uganda asooka kunyweza buwangwa n’ensibuko za buli muntu, tetuli mu kuvuganya, tuli mu kubeeragana” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro Mayiga wano w’akubiririzza abavubuka okubeera mu bibiina nga Baganda Nkobazambogo oba Basoga Nseete n’ebirala ebibayamba okutegeera obuvo bwabwe. Agamba bwe baanakola kino, Uganda ejja kufuna abantu abatuukiridde kubanga bategeera gye basibuka. Annyonyodde nti omuntu atuukiridde ne bwaba musawo, munnamakolero, munnamateeka, oba musomesa alina okutegeera obuvo bwe, ensibuko ye embeera mwe yazaalibwa era mwe yakukira.
“Ffe abaddugavu tewali kirala kyetusobola kufuuka ne bwe tuba abayigirize tetusobola kufuuka beeru” Katikkiro abavubuka bano ababuulidde okusoomooza baddugavu abali e Bulaaya kwe bayitamu, nti newankubadde boogera olungereza lusufu nnyo naye eri bababuuza ensibuko yaabwe kubanga kirabibwa olwa langi zaabwe nti baliko gye basibuka ewalala.
“Bwotamanya buwangwa bwo, oba wekotogedde, ggwe n’ekyennyanja ekitasobola kuwuga enjawulo tewali” Katikkiro Mayiga.