Bya Ssaava Kevins Kanyike
Kabowa – Kyaddondo
Omukulu w’Ekika kye Mmamba Omutaka Gabunga James Mubiru Zziikwa IV era Gabunga owa 38 alaze obwenyamivu olw’abamu ku bantu abalemedde ku muze og’okwabizaawo ennyimbe.
Bino Gabunga abyogeredde ku mbuga ye e Kabowa mu ggombolola y’e Lubaga mu ssaza Kyaddondo bw’abadde atikkula olutikkula okuva mu mituba mu ssiga ly’Omutaka Kiyaga e Sanda mu Busiro.
Omutaka Ggabunga akinoganyiza nti teri muzzukulu yenna alina kwabya lumbe nga telunatambuzibwa, akubirizza bazzukulu be okuddayo ku mpisa n’ennono za Buganda entuufu, ono era abazzukulu okuddayo eri bajjajjaabwe okutuuma abaana amannya kino kijja kukuuma ennono za Buganda. Avumiridde abantu abeerimbika mu mannya g’ebika nga ekigendererwa kyabwe kya kutunda ttaka lya kika.

Ye Katikkiro w’ekika kye mmamba Kyobe Gerald Kaberenge agambye nti abantu ba Buganda basaana okukomya okulamira abaana baabwe ettaka ly’Obutaka bwatyo n’abakubiriza okusitula omutindo. Ategeezezza nti abazzukulu baali basuuliridde obuvunanyibwa bwabwe eri Ekika, kye kyatandikisaawo enkola eyatuumibwa ‘Olutikula’ okugatta bazzukulu ba Ggabunga bonna.
Omutaka Kiyaga ow’e 19, Luyimbazi Mubiru Saulo aloopedde Omutaka Ggabanga nti okuva lwe bamutuuza mu ntebe ya kiyaga, waliwo egimu ku mituba mu ssiga lino abamukuba mu kkooti z’amateeka abaagala okunyaga ettaka ly’obutaka bwe ssiga, n’asaba Ggabunga n’abakulembeze abalala mu kika okutaasa embeera eno.
Katikkiro ow’essiga lya Kiyaga Ssalongo Noah Kibuuka agambye nti batunuulidde okuzimba ennyumba ku butaka bw’essiga lino e Sanda bwatyo n’asaba obukulembeze bw’Akasolya okubakwatizaako mu nteekateeka e’zokukulaakulanya essiga.