Katikkiro Mayiga ayanjudde embeera nga bweyimiridde mu Bwakabaka

Amawulire May 05, 2026
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayanjulidde olukiiko lwa Buganda n’Obuganda bwonna embeera nga bw’eyimiridde mu Bwakabaka, eno nkola ya buli mwaka, Katikkiro ayanjula ebikulu ebibadde mu mwaka oguyise, era enteekateeka eno ebeera mu lutuula lw’olukiiko lwa Buganda mu Bulange e Mmengo.

Katikkiro asoose kutebya nkola ya Situla omutindo eyatongozebwa mu mwezi ogw’okubibiri mu bizinga by’e Buvuma nga Obwakabaka bugenderera okwewala enkola ya gadibengalye mu mirimu gyonna abantu mu Buganda gye bakola egivaamu ebibala ebirungi nga erimu ennyingo mukaaga okuli Obulimi, eby’obusubuzi, ebyobulamu, ebyenjigiriza, amaka amalungi n’okusitula ebitone.Katikkiro ennyingo ezo wagulu azirambuludde;

Okulima emmwanyi Katikkiro alaze nti essira baalisizza ku bakyala n’abavubuka okulima emmwanyi kyokka baagateko n’ebirime ebirala ate nga bwe benywereza ku kulima nga Obwakabaka okunyweza omulamwa guno gwatandika n’okuggulawo zi Ssemaduuka mu masaza nga eyasooka yaggulwawo mu ssaza Buweekula.

Omulamwa gw’ebyobusuubuzi, Kamalabyonna anyonnyodde nti Obwakabaka bwaggulawo bboodi y’ebyobusubuzi eyatuumibwa Buganda Chamber of Commerce era wano nga ekiruubirirwa kya kuggya kutya mu bannansi abaagala okutandika emirimu gy’okusuubula

Eby’obulamu, Katikkiro anyonyodde nti Situla omutindo aluubirira okukubiriza abantu ba Ssaabasajja okwekuumira mu mbeera y’obulamu ennungi nga betangira endwadde ezitali zimu era ensiisira z’ebyobulamu ezitali zimu zikolebwa mu masaza ga Buganda okukuuma abantu ba Omutanda nga balamu.

Mu nnyingo y’ebyengiriza Oweek Mayiga alaze nti abayizi bangi abatikkidwa mu masomo ag’enjawulo okuyita mu matendekero ga Kabaka okuli Muteesa I Royal University ne Buganda Royal Institute of Business and Technical Education wamu n’okukwatira ku ttendekero lya Kasawo mu Kyaggwe okufuna amazzi amayonjo agaali gabasumbuwa. Era olw’okufuba okwongera ku baana abasoma nnassale Obwakabaka bwatandikawo nnassale 20 ku mbuga za masaza okubangula abaana ba Buganda.

Ku mulamwa gwa amaka amalungi Katikkiro alaze nti waliwo eddimu ly’okubunyisa mu byalo bya Buganda wamu ne bannamukago ba Wells of life nga Ssaabasajja yakasima enzizi eziri eyo mu 1000 okusobola okugoba obukyafu n’enfuufu awaka nga abaana bakulira mu maka amayonjo kuba guno omulembe Omutebi gwa buyonjo.

Okusitula ebitone nga kino Katikkiro Mayiga akinyonnyodde nti baakisaako omulaka olw’okuba nti abavubuka be basinga obungi era amaanyi gateredwa ku mizannyo egitali gimu omuli emipiira gye bika egyakatongozebwa, okugenda abavubuka gye bawangalira nga mu bivvulu nga babawagira kuba okuyimba mulimu oguvaamu ensimbi ezisobola okubabeezaawo.

Katikkiro alaze nti obukukembeze obulungamu butambulira ku ensonga ez’enkizo okuli buli omu okumanya emirimu gye nga teyetaaga kulondoola, okwewala okujjuza ebifo nga tewali mirimu gya muzinzi gikolebwa, okutambuliza emirimu gyonna mu nnambika entongole.

Katikkiro asabye abaami ba Kabaka ku mutendera gw’amasaza okuteegeera ebiruubirirwa byonna ebitambulira ku mulamwa gwa Situla omutindo olwo babisomese abaami b’eggombolola n’abatongole olwo Obuganda butambulire ku mutindo. Era ebitongole by’Owakabaka byonna bisuubirwa okuteeka mu nkola ekiruubirirwa ky’okusitula omutindo, okufaayo okulaba nti emirimu n’empeereza ze batuusa ku bantu gisitula omutindo.

Oweek Harriet Namukasa omukiise wa Nkobazambogo mu lukiiko lwa Buganda asabye okutumbula ebitone mu bavubuka okukyukamu kko nga wakiri n’omwana omuwala alowozebwako mu kutumbula ebitone byabwe wamu n’okuteeka omulaka ku bifo eby’obulambuzi nga ono anokodeyo ekifo ky’e Naggalabi ky’anyonyodde nti Obwakabaka busobola okukigyamu ensimbi nga bwekiri ku masiro ge Kasubi.

Pookino Jude Muleke asabye olukiiko lwa Buganda okwongera okwettanira enkola z’omutimbagano okuteesa mu nkiiko ez’enjawulo kuba oluusi babulwa obudde okutambula okuva mu masaza okujja okwetaba mu nkiiko eziba zitegekedwa e Mmengo.

Ssekiboobo Vincent Matovu asabye olukiiko okulowooza ku kubunyisa obulunzi bw’ente mu Buganda olw’ebirungi ebitambulira ku mulimu ogwo okuli okuggyamu ebigimusa ebissibwa mu nsuku, abaana okukula nga banywa ku mata awaka wamu n’abalimi obutasaasanya nnyo nsimbi mu kugula bigimusa.

Luweekula Andrew Ssempijja asinzidde mu lukiiko luno n’asaba abatwala ettendekero lya Muteesa I Royal University okuddamu okuggulawo ettabi eryaggalwawo e Buweekula olw’obutaba na ‘Charter’ kyokka kati nga baagifuna n’asaba essaza eryo liddizibwe omukisa gwa University ya Kabaka. Ono mu ngeri y’emu asabye abakwatibwako okwanguya ku nteekateeka ya World Vision ey’okukwatira ku ssaza okuzimba ekisaawe kya Buweekula.

Mukwenda Deo Kagimu asabye olukiiko okwongera ennyingo y’okulwanyisa akaveera mu nnimiro zaabwe mu nkola ya Situla omutindo wansi w’omulamwa gw’ebyobulimi basobole okutaasa ettaka lya Buganda liriise n’abantu abaliddawo.Dr. Vicent Ssenabulya akiikirira abaliko obulemu mu lukiiko lwa Buganda asabye abateekerateekera Obwakabaka okuteeka obuwuunzi ku kizimbe Bulange kuba abaliko obulemu bafuna obuzibu bunene okukozesa wofiisi ez’enjawulo eziri ku kizimbe ekyo.

Omukiise Jane Francis Lukwago Nambuusi akiikirira essazza Kyaddondo aloopedde olukiiko ku ddoboozi lya Katikkiro okusobola okulongoosa ebisobye mu ggwanga kale ono amusabye okussa omulaka ku kulwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga.

Ebiralala ebinokodwayo kwe kuli okutegeka omusomo gw’abataka abakulu ab’obusolya, okutegeka ekisaakaate okuggumiza obuntubulamu mu baana, okwongera okutta emikago.

LANGUAGE