Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Abaami Ab’amasaza n’Abamyuka baabwe basisinkanye ne Minisita abatwala owa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda, Owek. Joseph Kawuki ku mbuga y’Obwakabaka enkulu Bulange e Mmengo.

Ensisinkano eno egendererwamu okwekubamu ttooci mu ntambuza y’emirimu mu masaza, okulaba ebituukiddwako, ebitannatuukirizibwa wamu n’ebyo ebirina okunnyikizibwa mu kugenda mu maaso.
“Abaami ba Kabaka ab’Amasaza ye nnamuziga okutambulizibwa emirimu gy’Obwakabaka bwa Buganda mu nteekateeka ez’enjawulo era kiba kikulu nnyo ffenna okutambulira awamu, kuba be batuusa obuweereza n’amawulire obutereevu ku bantu, ate nabo ne baleeta amawulire agava mu masaza ne gamanyika Embuga” Minisita Kawuki.
Owek. Kawuki agamba nti ensisinkano eno etunuulira okwekubamu ttooci n’okunnyikiza obuweereza, ebisuubirwa mu baami n’okufuba okulaba nti ebikolebwa bitambulira ku misinde emituufu egiggumiza kaweefube w’okuzza Buganda ku Ntikko.
“Kijjukirwa bulungi nti abantu baayingira omwaka guno mu mbeera ya byabufuzi, bangi ne bamaliriza nga bacamuukiridde, abalala nga basobeddwa, oluvannyuma lw’okulonda waliwo bingi ebyabaawo abantu abamu ne basanyuka ate abalala nga banyiivu, kale buvunanyizibwa bwa baami okukumaakuma abantu n’okubazza emmeeme batambulire wamu okwetaba mu nteekateeka z’Obwabakabaka” Minisita Kawuki.
Owek. Kawuki agamba eggwanga lirimu ebisoomooza bingi nga abantu okugobwa ku makubo we babadde bakolera, abalala ne bagobwa we basula, ekireekawo embeera ey’okusoomooza n’okusoberwa, batyo agamba nti mu nsisinkano eno mubaamu okutunuulira engeri abaami gye basobola okuwabula n’okukola nabo okulaba nga abantu bateerwawo embeera ezitabanyigiriza.
Owek. Kawuki asabye abaami b’Amasaza okwongera okukola ebibasuubirwamu, emipiira gy’amasaza egigenda okutandika bafube ku bantu okwolesa empisa, banyweze obuwangwa n’ennono, banyweze obukulembeze okuviira ddala ku byalo, n’okwetegekera obulungi ekiseera ky’okwekennenya emirimu egikoleddwa mu mwaka oguyise, abasabye babeerewo bawagire eggombolola, okunyweza obwerufu n’okutambulira mu nnambika y’Obwakabaka.
Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi Matovu akiikiridde Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abamasaza mu lukiiko luno, ategeezezza nti enteekateeka eno ebayamba nnyo okubawagala nga Abaami ku ntambuza y’emirimu, agamba nti Abamasaza be basaza obubaka okuva Embuga ne babutwala mu bantu ate ne baggya n’obubaka mu masaza okubutuusa Embuga. Ategeezezza nti eno y’ensonga enkulu lwaki batuula awamu okusisinkana Minisita abatwala okutuukiriza kino.

Ye Lumaama David Luyimbaazi ategeezezza nti okukuba ttooci mu nzirukanya y’emirimu kyongera okubawa omukisa okulaba ebiteredde n’ebikyabulamu okutegeera we balina okussa essira mu kutumbula emirimu gye bakola. Ono agamba nti ng’Obwakabaka buli mu nteekateeka ya Situla Omutindo, bayita mu lutuula nga luno okwebuuza; obuweereza bw’Abaami butuuka ku bantu?; abantu baganyulwa mu nteekateeka z’Obwabakabaka, bazijjumbira, n’ebirala ebiringa ebyo.
Luweekula Andrew Ssempijja agamba nti bbo ng’abakulembeddemu okuggulawo empaka z’omupiira gw’amasaza, mu lutuula bakubiriziddwa wamu n’Abamasaza abalala basabiddwa okugoberera ennambika n’amateeka g’empaka, n’okwegendereza ekiseera ekirimu okusoomoozebwa kwa Ebola okulaba nga ebiragiro by’abakugu mu byobulamu bigobererwa.
Regina Nasseremba, Mumyuka Owookubiri owa Mukwenda, ategeezezza nti amasaza gali mu kiseera kya mpaka za mupiira era bakola obutaweera okulaba nti abantu bajjumbira okuwagira emipiira gy’Amasaza n’enteekateeka z’Obwabakabaka endala. Agamba nti batunuulidde okufuba ku mpisa zibe nnungi okuvuganya kulungamu abantu banyumirwe emizannyo.