Abatyoboola eddembe ly’Obuntu tubasaba mweddeko – Omulangira Nakibinge

Amawulire Jun 28, 2026
Share This

Bya Miiro Shafik

Kibuli – Kyaddondo

Jjajja w’Obusiraamu mu Uganda Omulangira Dr. Kassim Nakibinge avumiridde ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu ebyeyongera buli lukya mu Uganda, agamba bino byandisuula eggwanga mu katyabaga.

Omul. Nakibinge ansizidde Kibuli ku muzikiti ku mukolo gw’okujjukira emyaka 131 bukya Omulangira Nuuhu Ssimbwa Kyabasinga Mbogo ava e Zanzibar mu buwanganguse n’adda mu Uganda n’alwanirira okunnyikira kw’eddini busiraamu.

“Ebiri mu Uganda mubiwulira, ennaku zino waliwo okutyoboola eddembe ly’obuntu, waliwo enkola ezze gye tuyinza okugamba nti yakusubira mu bbwa, enkola eno bannange ssi ntuufu. Ekinyiiza era ekimalamu amaanyi nti abalina obuvunaanyizibwa okutukuuma n’ebyaffe, ate be bali mu nkola eno ey’okutoboola eddembe ly’obuntu! Tubasaba bannaffe mweddeko, kye mukola tekirina gwekiyamba wadde gwekigasa” Dr. Nakibinge.

Omulangira Nakibinge alaze obwenyamivu nti newankubadde omulamuzi Egonda Ntebe bwe yali awummula yagamba ku balamuzi banne nti balemeddwa okutuukiriza obulungi omulimu gwabwe, bakola ne kyekubiira era n’abasaba okuyiga okuyimirira ku nsonga, yalinga afuuyira endiga omulele.

“Twagala okugamba bannaffe abalamuzi, nti ate nammwe abandituwadde obwenkanya nga ne mulamuzi munnammwe yabagambako nti temwetengeredde, ffe tetuyinza muwakanya kubanga nammwe temwamuwakanya, mumanyi bye mumanyi naye embeera gye tulimu esaana okuba nga etereera, lino eggwanga lyaffe ffenna, buyinza bwa Gavumenti okukwata omuntu yenna era tetwagala kugiyingirira naye tugamba oyo agambibwa okuba omumenyi w’amateeka bamukwatire mu mateeka nga bwegalagira” Dr. Nakibinge.

Omulangira Nakibinge era asinzidde wano n’asaba abakulembeze ab’ensikirano okufunayo akaseera banonye omukulembeze w’eggwanga banyumyemu balabe oba ebigenda mu maaso abiraba oba naye alaba nga abalala bwe babiraba, wabeewo ekikolebwa kubanga embeera erabika etandise okusajjuka.

Jjajja Mbuga avumiridde n’ekyokuggalawo emikutu gye byempuliziganya nga bwe kyakoleddwa ku mikutu gyonna egya Nation Media egiri mu Uganda ng’agamba nti n’okwogera obwogezi abantu bwe baba batandise okubaggya ku mpewo, walina okubaawo engeri ennungamu egasa Bannayuganda bonna okutwaliza awamu.

Ku nsonga y’okujjukira amadda ga Mbogo, Omulangira Nakibinge agamba nti ono yali muzira nnyo nga muvumu era nga alina okwolesebwa okw’amaanyi. Ategeezeza nti kirungi abantu bonna okumuyigirako naddala obuteegwanyiza, okwewala entalo, okunywerera ku nsonga n’okulwanirira ebyo bye bakiririzaamu nga Nuuhu Mbogo bwe yalwanirira obusiraamu.

Ye Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo naye eyetabye ku mukolo guno, agamba nti Nuuhu Mbogo mukulu nnyo mu busiraamu ate ne mu Bwakabaka bwa Buganda kubanga y’omu kw’abo abaazimbirwako Buganda n’Obusiraamu. Ategeezeza nti wakati mu ntalo z’amaddiini n’eza bakyeruppe nga baagala okwezza Uganda, ono yayimirirawo okulaba nti Buganda, n’Obusiraamu tebisaanawo era n’okulaba nti Uganda eyimirirawo.

Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Muhammad Shaban Galabuzi atenderezza omukululo gwa Nuuhu Mbogo n’omusingi gwe yasiima Obusiraamu okuyimirirawo. Ategeezezza nti kati essira lya kulaba nti ebyo bye yalwanirira tebisaanawo, era bafuba okuteekawo enkulaakulana ez’enjawulo, okulwanirira empisa n’ekifaananyi ky’eddini. Ono asabye ba Khadhi wamu n’abakulira amasomero g’Obusiraamu okufuba ku mbeera ezikakanya Obusiraamu zirinyibweko nga embeera tennasajjuka.

Sheikh Yasin Kiweewa y’akulembeddemu okubuulira ku mukolo guno era yesigamye nnyo ku kukubiriza abaddu ba Allah mu bye bakola byonna okwesigamira Omutonzi waabwe Allah n’okugoberezaako ebikolwa nga Omulangira Mbogo bwe yakola. Ategeezeza Abasiraamu nti bwe banaakola nga eddiini yaabwe bw’eragira ne Allah ajja kubamalira mu nsonga zaabwe zonna.

Sheikh Yasin alabudde abantu abakeka eyabatonda ate obwesige ne babuteeka mu bantu bannaabwe, asabye bannabyabufuzi naddala okwewala okwesigamira abantu obuntu oba ebibiina by’obufuzi wabula beekwate eyabatonda, akikaatiriza nti buli mulembe gubaako bakiwagi, kyokka bamala ne bavaayo, ate ye Allah waali lubeerera.

Omukolo guno gwetabiddwako Abakulembeze mu Busiraamu bwa Uganda ku mitendera egy’enjawulo, Abakulembeze okuva mu Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka n’eya wakati, abakulembeze b’amasomero n’abantu abalala bangi.

Nuhu Mbogo Kyabasinga yali mutabani wa Ssekabaka Ssuuna II, yalwanirira nnyo obusiraamu, kyokka yatawanyizibwa nnyo okutuuka okuwangangusibwa n’agenda e Zanzibar gye yava nga 30 Ssebaaseka 1897 nga mu mwaka guno giweze emyaka 131 bukya akomawo. Ono eyazaalibwa mu 1835 yafa mu 1921.

LANGUAGE