Ekika ky’Omutima kitegeka kuzimba kitebe Kampala – Katikkiro Mayiga akowoodde bazzukulu banne

Amawulire Jun 30, 2026
Share This

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza ebika okubangawo enteekateeka ezibikulaakulanya wamu ne bazzukulu.

Bino abyogeredde ku nbuga y’Obwakabaka enkulu Bulange Mengo bw’abadde ayanjulira bannamawulire enteekateeka z’okulaakulanya ekika ky’Omutima kye yeddira era nga ye muwi w’amagezi asooka ku lukiiko lw’Ekika.

Mu kaweefube w’okulaakulanya ebika abazzukulu babiganyulwemu, ab’ekika ky’Omutima ekikulemberwa Omutaka Namugera Kakeeto Dr. Nicholas Kasekende, balina enteekateeka y’okuzimba ekitebe ky’Ekika mu Kampala okunabeera woofiisi ez’enjawulo n’ebisenge omukolerwa emirimu emirala.

“Nasanyuka nnyo Jjajjange Namugera Kakeeto bweyampa Obwami mu Kika kyaffe eky’Omutima okuweereza nga omuwi w’amagezi asooka mu Kika, era nasaba Omutaka w’Akasolya ne tutuuza olukiiko mu Butikkiro ne tukubaganya ebirowoozo okulaba bwe tukulaakulanya Ekika kyaffe, ffe nga Abomutima emu ku nsonga gye tulaba etunafuya mu kukulaakulana bwe butaba na kkakkalabizo lya Kika eno ku Kibuga abazzukulu we batuukira amangu ate nga tulina ettaka lyaffe e Makindye” Katikkiro Mayiga.

Ategezezza nti wano we wava ekiteeso okutegekayo ensisinkano y’Abeddira Omutima buli omu nga awaayo ssente okutandikira ku kakadde n’okweyongerayo, bawagire enteekateeka y’okuzimba ekitebe ky’Ekika e Mutundwe. Ayanjulidde bannamawulire nti nga 18 Kasambula, 2026 lwe lunaku lw’ensisinkano eno mu Butikkiro e Mengo.

“Nawandiikidde abantu amabaluwa okujja ku lunaku luno era buli gwe nayise ajja n’akakadde ka ssente, kyokka waliwo be saasobodde kutuusaako mabaluwa, wabula buli alina akakadde kw’olwo ayanirizibwa. Abalala abataweza kakadde bbo ssente bajja kuzituusa eri omuwanika w’Ekika nabo bawagire omulimu guno, tuyita Abomutima bonna, bakoddomi baffe ne bakyala baffe abaafumbirwa Abomutima mwenna” Owek. Mayiga.

Katikkiro agamba nti enteekateeka eno nga bweri mu Kika ky’Omutima waliwo n’Ebika ebirala ebiriko enteekateeka ez’enkulaakulana bye zitandiseeko, bwatyo asabye buli kika okubangayo enteekateeka ez’enkulaakulana. Ajjukiza ne ku bubaka bwa Kabaka obwalagira Abataka bonna okuteekawo enkiiko z’obukulembeze mu Kika ezikulemberwa bakatikkiro, anyonnyodde nti Ekika bwekiba n’olukiiko olukola emirimu enkulaakulana zijja kutuukibwako.

Kamalabyonna ategeezezza nti omulimu gwe baluubirira ogw’okuzimba ku ttaka lyabwe erisangibwa e Mutundwe gusuubirwa okuwementa ensimbi ezikunukkiriza mu kawumbi, kyokka baagala batandike n’ensimbi zonna ezinajja.

LANGUAGE