Buganda etongozza akakiiko akalwanyisa ebibamba

Amawulire Jun 30, 2026
Share This

Bya Jjuuko Huzairu Wasajja

Mengo – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda butongozza akakiiko akagenda okuvunaanyizibwa ku kulondoola n’okukola ku bibamba ebigwa bitalaze, era kakulirwa Oweek Israel Kazibwe Kitooke, amyukibwa Oweek Joseph Kawuki, n’abalala.

Akakiiko katongozeddwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, bw’abadde asisinkanye abakungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu n’ekitongole ky’ensi yonna ki United Nations Development Program, okulaba enjuuyi zombi bwe zikwatagana okutangira okusasaana kw’obulwadde bwa Ebola.

Asinzidde wano n’asaba bannayuganda okufaayo ennyo okuwuliriza okulambikibwa okukolebwa abakugu ku ndwadde nga zino, ate batemye ku bali mu by’okwerinda singa basanga omuntu atunda ennyama y’Enkima kubanga obulwadde bwa Ebola butambulira nnyo mu nnyama eno newankubadde nga bannansi ba Dr. Congo bbo bagirya.

Dr. Richard Kabanda, kamisona mu minisitule y’ebyobulamu era avunaanyizibwa ku ndwadde nga zino, ategeezezza nga Uganda bweyongedde okukola obulungi mu kulwanyisa obulwadde bwa ebola nga mu kiseera kino ekyayimiridde ku muwendo gw’Abantu 20 abaakakwatibwa obulwadde obwo nga ku bano abantu 5 bokka be bannayuganda.

Minisita w’enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, agambye nti Obwakabaka busoosowaza nnyo ensonga y’ebyobulamu era nga buyita mu mukago gwe bulina ne Minisitule y’ebyobulamu bugenda kutandika kaweefube w’okumanyisa abantu ba Buganda okubeera obulindaala ku kirwadde kya Ebola n’okwetangira embeera yonna eyinza okuvaako okukwatibwa obulwadde buno.

LANGUAGE