Minisita Kazibwe akubye abakulembeze akaama

Amawulire Aug 15, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Bukesa – Kyaddondo

Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kitooke Kazibwe akyaddeko ku bisulo by’abayizi ba Mengo Secondary school okuli; Royal Boys eky’Abalenzi ne Imperial Girls eky’Abawala, ne yetaba ku mukolo gw’okulayiza abakulembeze abaggya ab’ebisulo bino.

Oweekitiibwa Kazibwe eno gy’asinzidde n’akuutira abakulembeze abalondeddwa obutatwala buvunaanyizibwa bubakwasiddwa nga eky’omuzannyo kubanga guno musingi gwa nkizo mu bulamu bwabwe mu biseera eby’omumaaso era n’abakuutira okufaayo ku balala.

Omukolo guno gwetabiddwako Dean wa Lutikko ya St Paul’s Cathedral Namirembe, Reverend Canon Dunstan Kiwanuka Mazinga n’Omukyala, ono akubirizza abayizi okufaayo ku bannaabwe okumanya bye bayitamu, okuwa ekitiibwa abo ababasingako ate n’okutambulira mu bulamu obujjudemu enkola z’Obwakatonda.

LANGUAGE