Bya Huzairu Jjuuko Wasajja
Mutundwe – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga alambudde Omw. Kibirige Henry ne mukyala we Jane Kibirige mu maka gaabwe agasangibwa e Mutundwe okubasaasira obulwadde, mu maka gaabwe e Mutundwe.
Henry Kibirige mutabani w’omugenzi Bendicto Kibirige eyali omuduumizi omukulu ow’eggye lya Ssekabaka Muteesa II.
Katikiro asaasidde mwami Kibirige ono wamu ne mukyala we Jane Kibirige obulwadde obubalumaluma, n’ategeeza nti mwami Kibirige ono yamuyamba nnyo nga yakatandika okuweereza Ssaabasajja Kabaka kubanga y’omu kubeyebuuzangako mu nkola y’emirimu.
“Nga bwe mumanyi nti nze natandika okuweereza Ssaabasajja Kabaka nga ndi mwana muto, abasajja abakulu be nayagalanga ennyo okunyumyamu nabo okumbulira ebyo ebyaliwo edda mu mirembe gya Ssekabaka muteesa mwami Kibirige y’omu ku bbo, era twasisinkananga mu bifo bingi nnyo naye teyalemanga kunnyumiza ebyo ebyaliwo mu mirembe gya Ssekabaka Muteesa wamu n’okunnungamya mu nkola yange eyemirimu nolwekyo mwebaza nnyo” Katikkiro Mayiga.
Katikiro agamba nti mukwano gwe Kibirige ono abadde takyalabika olw’ekizibu ky’amaaso era kyavudde asalawo okumulambulako.
“Mwami Kibirige namala naye ebbanga ddene n’atuuka nga takyalabika olw’ekizibu ky’amaaso agamusumbuwa kyenvudde nsalawo nzijje mu lambuleko ategeere nti ssimwerabiranga era sijja kumwerabira kubanga tuli baaluganda ne mu Katonda” Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna yebazizza abaana ba Mwami Kibirige wamu ne balirwana be olw’okumulabirira n’okumukuuma nga muyonjo kubanga okuva edda yali muyonjo nnyo.Katikiro asabye abantu okukuuma enkola eyobwasseruganda nga bwekyali edda nga omuntu bw’akuba enduulu adduukirirwa.

“Edda tewabangawo bikomera bizimbe bwabanga bukomera nga omuntu bwafuna ekizibu adduukirirwa mangu, tuleme kukoppa mbeera za bazungu kubanga mu bazungu oyinza okubeera n’omuntu mu nnyumba y’emu emyaka kkumi naye nga tomanyi, n’olwekyo mbasaba tusigale n’enkola ey’okuwuliziganya tuleme okukoppa ebitali byaffe bijja kwonoona ensi” Katikkiro Mayiga.
Mw. Kibirige Henry agamba nti ye ne Katikkiro bamanyiganye okuviira ddala mu ssomero era musanyufu byansusso olwokumusuulira omwoyo najja n’amulambulako. Ono atenderezza Kamalabyonna olw’omutima omulungi gwalina kubanga akabanga ke baasisinkana katono ddala naye n’afaayo okumunonya newankubadde emirimu gimukoma mu bulago.