Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Kkampuni ya Zydus Life sciences esse omukago n’Obwakabaka okuwa abazannyi abeetaba mu mpaka z’omupiira gw’amasaza eddagala n’obujjanjjabi obusookerwako.
Kkampuni eno ekola eddagala erijjanjjaba ebinywa n’ennyingo, eriyitibwa ‘Simba Pain Balm’, lye waddweyo mu buli nkambi ya tiimu y’Essaza n’ekigendererwa eky’okuyamba abazannyi okufuna obujjanjabi obw’ekikugu.
Ku lwa Minisita w’Abavubuka emizannyo n’ebitone, Oweek. Choltildah Nakate Kikomeko, ategeezezza nga obuwagizi buno bwe bugenda okugasa abazannyi awamu n’okukulaakulanya omupiira gw’abavubuka mu Buganda.
Minisita Nakate agamba nti okuwa abazannyi bano “Simba Pain Balm” kya mugaso nnyo kubanga batera okufuna obulumi n’okukoowa kw’emibiri olw’okukola ennyo nga bazannya era kino kigenda kubayambako okutoowolokoka n’okuwona obulumi bwonna bwe baba bafunye.

Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk. Remmie Kisaakye, agamba empaka z’amasaza nkulu nnyo kubanga zitumbudde ebitone by’Abavubuka ne basumuusibwa okutuuka ku ddaala ly’okusambira tiimu y’eggwanga. Abamu ku bazannyi bano kuliko; Farouk Miya, Emmanuel Okwi, n’abalala.