Bya Edward Nkalubo Kiragga
Kira-Kyaddondo
Libadde ssanyu mu ekeleziya y’omutukuvu Paulo e Namirembe ng’omu ku bavubuka atuula ku lukiiko lw’abavubuka mu Buganda Ssekadde Paul awasa muvubuka munne Namubiru Doreen ku mukolo ogubadde ogw’ekitiibwa era ogusitudde ebikonge eby’enjawulo.

Minisita Noah Kiyimba ku lwa Katikkiro, asinzidde ku mukolo guno n’akuutira abafumbo bano obutatwala kuwabula kwa buli muntu ku nsonga z’obufumbo kuba kiyinza okubaviirako entata.
“Ensangi zino abantu bangi befuula abawi b’amagezi eri abafumbo, osanga oli atafumbirwangako n’omusanga ku mitimbagano okwo nga y’awabula abafumbo n’olwekyo mwami Ssekadde n’omukyala mbasaba twewale nnyo ebigambo ebitambulira ku mitimbagano mu bufumbo so bwe waberawo ensonga yonna abazadde bakyaliwo n’abantu abakulu bangi abasobola okubawa amagezi naye twewale obufumbo okubutambuliza ku mitimbagano nga bwe tulaba buli yefuula senga n’abulirira abafumbo” Oweek Kiyimba.
Oweek Kiyimba asabye abafumbo bano okusalawo n’obwegendereza ku buli nsonga ebajjira naddala ey’amaka nga tebasalawo mu kupapa wabula nga bawuliziganya okwetegereza ensonga entuufu ey’okusalawo enakyusa obulamu bwabwe.
Omukulu w’ekika ky’Effumbe Omutaka Walusimbi Yusuf Mbirozakya asabye Ssekadde n’omukyala okuzaala abazukulu mu kika kireme kusaanawo kuba gwe mulembe gw’enkya, abasabye era banyikire okukola bakyuse obulamu bwabwe mu ngeri ebagasa.

Mmeeya wa Mukono, Kabanda Robert akubirizza abagole okunyiikira okukola nga baweesa amaka mwe babadde ekitiibwa kubanga babuliridwa ku ntambuza y’obulamu kale nga tebasaanye kuswaza bazadde babakuziza.
Ssentebe w’abavubuka mu Buganda Derrick Kavuma asiimye abagole bano olw’okuwulira eddoboozi ly’embuga ku bufumbo ne balisa mu nkola kale n’asaba abavubuka abalala mu Buganda okukitwala nga eky’okulabirako bafune ababeezi bawase ate bafumbirwe.
Abagole bano basembeza abagenyi baabwe ku Akaama Resort e Kira Bulindo, Kyaddondo.