Abavubuka mu bulabirizi bw’e Namirembe batumiddwa okunyweza Namulondo

Amawulire Aug 28, 2026
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Abakulembeze ba bavubuka mu bulabirizi bwa ba kulisitaayo b’e Kkanisa ya Uganda e Namirembe batumiddwa okukola emirimu eginyweza ekitiibwa kya Namulondo nga bino bibabulidwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu nsisinkano yabwe ebadde ku Bulange e Mmengo.

Olukiiko olukulembera abavubuka mu bulabirizi bw’e Namirembe oluggya lwalondebwa mu Kafumulampawu wa 2026 mu akalulu akaali ak’ebbugumu era Arthur Kalumba mwe yasobola okulangirirwa nga omuwanguzi mu bavubuka banne gwe balonda okubakulembera mu kiseera kino.

Katikkiro Charles Peter Mayiga wano w’asinzidde okutikka abavubuka bano eddimu okuyita mu ssentebe waabwe Kalumba Arthur ly’okukuuma n’okutaasa Nnamulondo mu buwereza bw’ekkanisa bwe balimu.

“Ssebo Kalumba buli ky’okola mu buweereza buno bw’olimu kikole nga okuuma, nga onyweza era nga otaasa Namulondo kuba nze sirowooza nti oyinza okuswaza Beene kuba okuswaza Beene kwe kukola ebitagya mu kifo mwooli, kale oyina okuba n’obuweereza obw’enjawulo nga okuuma ekitiibwa kya Kabaka” Katikiro Mayiga bwatumye abavubuka.

Oweek Mayiga akuutidde abavubuka bano okusiga obulungi mu biseera byabwe eby’ekivubuka nga betegekera ebiseera ebijja n’obukadde bwabwe nga bakola ebyo ebisaanidde okukolebwa okuli n’okuwasa nga bazimba omusingi omulungi ogw’obulamu.

Katikkiro akkaatiriza obukulu bw’obukulembeze eri abavubuka bano ky’anyonyodde nti bwe watabaawo bukulembeze bulungamu tewabaawo kituukibwako kyokka alaze nti abavubuka balina okutegeera Katonda nga bakola ebigasa ababetolodde wamu n’okutaasa obuwangwa bwabwe.

Ssentebe w’abavubuka omulonde Arthur Katumba asinzidde mu nsisinkano eno n’asiima gavumenti ya Kabaka olw’okulungamya abavubuka ku buli mbeera n’obutabasuulirira nga abalungamya ku kuntambuza y’obulamu.

Kalumba akoowodde abavubuka bonna okwenyigira mu buwereza bw’ekkanisa wamu n’obwobuwanngwa nga eky’okulabirako awadde kya bulamu bwe n’emirimu gye nga ono muweereza mu Kabaka Foundation era mu kitongole kya Pulotoko wamu n’okuweereza mu kkanisa ya Uganda.

Akulira ekitongole ky’obuweereza bw’abavubuka e Namirembe Lule Teefero Lubwama alaze nti bakola emirimu egyenjawulo ekgigendereramu okusitula embeera za bavubuka mu kkanisa okuli okubulira enjiri ey’ebigambo n’ebikolwa abavubaka basobole okutambula nga bategerekeka mu nsi, okuyamba abavubuka okwekulaakulanya nga beggya mu bwavu okuyita mu kukola nga tebenyooma wamu n’okuyamba abavubuka okuzuula ebirabo Katonda by’abawadde basitule embeera zaabwe.

Abavubuka abo bawerekedwako ababuulizi okuli Rev. Julius Kinene, Rev. Nakibinge ne Rev. Steven Lumu okuva mu bulabirizi bw’e Namirembe nga ne minisita w’Amawulire Israel Kazibwe Kitooke abaddewo.

LANGUAGE