Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Eggwanga lyafunye obubaka obw’entiisa olw’okufa kw’Omukama wa Tooro Oyo Kabamba Iguru Rukidi IV nga 27 Muwakanya 2026 nga ono kigambibwa nti abadde mukosefu okumala akabanga.
Obwakabaka okuyita mu Katikkiro Charles Peter Mayiga bukubagiza Obukama bwa Tooro olw’entiisa ennene eyabaguddeko, ono alaze okunyolwa olw’omukulembeze abadde omuto bwatyo okufa nga abantu be ab’e Tooro babadde bamulinamu essuubi.

“Omukama abadde akyaali muto kubanga yazaalibwa mu 1992 era Tooro yonna ebadde emulinamu essuubi ddene naye ne Uganda okutwaliza awamu ku nsonga z’ebyenkulakulana ” Katikkiro Mayiga bwakubagiza.
Oweek. Mayiga alaze nti enkolagana y’Obwakabaka ne Tooro ya mugundu kuba ne Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II yalondebwa nga omu ku bakuza b’Omukama Oyo Nyimba Rukidi IV eyatuuzibwa ku bukulembeze nga akyali muto ekyayongera okugata abakulembeze be nnono abo ababiri n’okukulembera mu ngeri ey’enjawulo.
Kamalabyonna asabye abantu b’Obukama bwa Tooro bonna okusigala kimu naddala mu kiseera kino eky’okusoomooza okwamaanyi nga balindirira okulungamizibwa okuva ew’omuhikirwa wa Tooro ku nteekateeka zonna ezinaddira ku okugenda kw’Omukama.