Bya Samuel Stuart Jjingo
Serena Hotel Kampala – Kyaddondo
Ssentebe wa bbs Terefayina Omuk. Fabian Kasi, awandiise ekitabo ekinnyonnyola ku bulamu bwayiseemu kyatuumye, “Entrusted”

Ekitabo kino kitongozeddwa Omumyuka wa Katikkiro owookubiri era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, ku Serena Hotel mu Kampala, yebazizza Omukungu Kasi olw’obuntubulamu bwayolesa mu mbeera ze, n’ayanguyirwa abalala okumweyuna.
Fabian Kasi kyajje awummule obwa Ssenkulu bwa Centenary Bank, era awagira nnyo enteekateeka z’Ekika kye.
