Bya Arthur Kalumba, Gerald Mulindwa ne Huzair Jjuuko Wasajja
Mmengo – Kyaddondo
Olukiiko oluteekateeka olunaku lwa bavubuka mu Buganda olulibaawo nga 7 museenene 2026 Lutongozedwa.

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek Robert Serwanga Ssaalongo yakoze omukolo gwo kutongoza olukiiko luno era akuunze abavubuka bonna gyebawangalira okwetaba mu nteekateeka zonna ku lunaku olwo.
Minisita agamba nti olunaku olwo lwa mugaso nnyo eri abavubuka kubanga lubayamba okwekubamu tooki mu nkulakulana yabwe.

Minisita akubirizza abavubuka okufaayo okutereka ku nsiimbi zaabwe kibayambe okwekulakulanya n’okusitula omutindo mu byenfuna byabweOwekitibwa Balikudembe Sentebbe wa Boodi ya Ssuubi lyo zambogo yebazizza nnyo olwomulamwa gwo mwaka guno ku lunaku lwa abavubuka ogwo kusiiga ensiimbi zaabwe era akawodde abavubuka ba Buganda yona gyebali okujja okujjumbira enteekateeka eno era nasaba abakiise bolukiiko okukowoola abavubuka okwefunira emigabo gyabwe.

Olukiiko luno lukulemberwa Ssentebe wabavubuka mu Buganda munnamateeka Derrick Kavuma nabalala.
