Amawulire

Katikkiro Akunze Ab’Ekizinga Bubeke Okwekuuma Mukenenya

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alaze obukulu bw’okwekuuma akawuka akaleeta mukenenya mu kwolesebwa kwa Buganda okudda ku ntikko. 

Katikkiro asinzidde mu bizinga by’e Lwazi Bubeke mu Ssaza Ssese, gy’agenze okunnyikiza enjiri y’okulwanyisa n’okwekuuma mukenenya afumbekedde mu bizinga olw’abantu baayo okubulwa okubangulwa okutuufu ku kabi akali mu kulagajjalira obulamu bw’abwe nekibaviirako okukwatibwa obulwadde n’ekizingamya enteekateeka z’ebiruubirirwa by’abwe. 

Katikkiro agamba nti okwolesebwa kw’obwakabaka kwa kuzza Buganda ku ntikko, ekitegeeza okubeera abalamu mu mubiri, okusomesa abaana omuli okubaliisa n’okubalabirira, okusula bulungi nga tosula na bisolo, nga omuntu alina wajja ensimbi ezimubeezaawo. Era okudda ku ntikko kitandikira ku muntu ssekinoomu. Mu byonna obulamu kye kisosowazibwa, mu kyo omuntu omugezi yewala endwadde (“Lwaki bakukubiriza okwewala endwadde ate nga obulamu bubwo n’olwekyo mwewale mukenenya kubanga akukwata olaba, mwekebeze, era mumire eddagala, Oyinza otya okusaabala ku nnyanja emyaka egiwera naye n’olemwa okumira eddagala”. Bw’ategeezezza.

Bw’atyo asabye bannaddiini boogere ku bulwadde bwa mukenenya mu masinzizo  abantu batebuke obulwadde buno. 

Eri abavubuka abasabye baleme kukebeza maaso, wabula batwale obudde bagende mu basawo abakugu babakebere, n’abasaba obutakkiriza ekyo ekibawujja okubaziba amaaso ekiyinza okubaviiramu okufa. Abalabudde ku masanyu amangi, nti nga tebasobola kugekuuma lwakiri bageesonyiwe kubanga limu ku makubo agaleeta mukenenya. 

Yebazizza enteekateeka y’olusiisira lw’ebyobulamu abantu abasoba mu 700 mwe bafunidde obujjanjjabi obutali bumu. Mu Lusiisira luno Katikkiro agemye omwana Carol Kariza ow’omwezi gumu gwokka, obulwadde bwa Polio.

Olwobugubi bw’okukolera ku kizinga, Katikkiro asabye gavumenti okwongeza ku musaala gw’abasawo abakolera mu bizinga kubanga beerekereza bingi okukolera mu mbeera erimu okusomoozebwa okuyitirivu.

Yebazizza omwami w’e ggombolola Musaale Bubeke, olw’okukubiriza abantu b’e Bubeke okuwayo era y’eggombolola eyasinga okutoola oluwalo mu bwakabaka okusinziira ku muwendo gw’abantu abali mu ggombolola eyo. 

Ku nsonga y’envuba; Kamalabyonna awadde abavubi amagezi batambulire mu Nvuba etaasa ennyanja, beewale okutta obw’ennyanja obuto. 

LANGUAGE