Amawulire

Ekikopo ky’amasaza kyanjuddwa ewa Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa

Tiimu y’essaza Kyaggwe, abatendesi, n’olukiiko lw’essaza nga lukulembeddwa Ssekiboobo Vincent Matovu, n’omumyuka we ow’okubiiri Fred Katende, bakedde Muyenga mu maka ga Omumyuka ow’okubiiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, okumwanjulira ekikopo kye baawangudde oluvannyuma lw’okukuba Gomba goolo 1-0 mu kisaawe kya Muteesa II Memorial Stadium e Wankulukuku olunaku lw’eggulo, ate n’okuwoza olutabaalo ku byebayiseemu okutuuka ku buwanguzi buno.

Oweekitiibwa Robert Waggwa Nsibirwa abadde omusanyufu eby’ensusso, yebazizza nnyo abazannyi, abatendesi, obukulembeze bw’Essaza, ne banna Kyaggwe olw’obumu bwe balaze obwasobozesezza essaza lyabwe okutuuka ku buwanguzi n’asaba abazannyi okusigala n’omwoyo gw’obumu ogwo bazannyire Kyaggwe n’empaka eziddako baziwangule.

Omwami w’Essaza Kyaggwe, Ssekiboobo Oweek Vincent Matovu, yebazizza nnyo abazannyi abaakoze ekisoboka okulaba nga bawangula ekikopo nebamalawo ennyonta ebadde ku bannakyagwe ey’obutawangula kikopo.

Omutendesi w’Essaza Kyaggwe, Ssali Ronald, yebazizza abazannyi abasobodde okwolesa empisa okuva empaka z’omulundi guno lwe zaatandika era n’abasaba nga bannabitone okukuuma empisa tiimu ez’enjawulo eziribatwala kibasobozese okuganyulwa mu kitone ky’abwe.

LANGUAGE