Amawulire

Kyaggwe Ewangudde Ekikopo Ky’Amasaza 2026.

Ssaabasajja Kabaka asiimye nalabikako eri obuganda ku kisaawe Muteesa II e Wankulukuku.

Essaza Kyaggwe be ba nnantameggwa b’empaka z’emipiira gy’Amasaza omwaka 2026. 

Okutuuka ku buwanguzi buno Kyaggwe ekubye Gomba goolo 1-0 eteebeddwa Kato George . Kato alina goolo 6 mu mpaka zino. 

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye n’akwasa Kyaggwe ekikopo kyayo ekisookedde ddala mu byafaayo oluvannyuma lw’okugezaako enfunda nga tewangula. 

Beene awerekeddwako Omumbejja Katrina Sarah Ssangalyambogo, gw’asiimye ayambaze emidaali ab’e Gomba abakutte eky’okubiri. 

Katikkiro Charles Peter Mayiga, ayozaayozezza Kyaggwe olw’omutindo gweyolesezza ate n’okulemerako enfunda eziwera ekibasobozesezza okutuuka ku buwanguzi. 

Omwami w’Essaza Bugerere, Mugerere Oweek Samuel Ssemugooma ye Mwami w’essaza asinze okulaba emipiira gy’amasaza emingi omwaka guno. 

Meddie Kasule omuzannyi w’e Gomba y’asinze okuteeba goolo ennyingi (6) era aweereddwa engule. 

Masaaba Herbert ow’Essaza Mawogola y’abadde omukwasi wa goolo asukkulumye ku balala. 

Tiimu y’e Ssaza Butambala yesinze okwolesa empisa ate n’okulabika obulungi mu mwaka guno. 

Alijole Godfrey ow’e Kyaggwe ye muzannyi asinze mu mpaka z’omwaka guno.

Kyaggwe kino kyekikopo kyayo ekisoose ate yyo Gomba ebadde eluubirira kikopo kya 6. Gomba yakazannya yafinolo 10, erina ebikopo 5. 

LANGUAGE