Amawulire

Omusumba Kalumba Agguddewo Omusomo Gw’Abataka

Omusumba Ssaalongo Kalumba Johnson okuva mu kkanisa y’Abadiveenti aguddewo omusomo gw’Abataka Abakulu Abasolya kulwa Ssaabalabirizi Omusumba Samuel Kajjoba.

Naye alaze obweraliikirivu nti abavubuka b’ensangi zino tebaagala kuzaala, beekwasa nti batya obuvunaanyizibwa obwokuweerera, okuyonsa, n’okulabirira abaana.

Omusumba Kalumba alaze obweraliikirivu olw’abazzadde abatalina buvunaanyizibwa ku baana nga babakuliza mu biffo ebitasaanidde kyokka nga kimanyiddwa bulungi okuva edda nti omwana asaanidde okukulira mu maka agalimu abazadde. Akuutidde banna Uganda okulaba nti bakuza abaana abawala n’abalenzi mungeri ey’obuvunanyizibwa.

Omusumba Kalumba akubirizza abazadde okusembeza abo bebatalinako luganda kubanga kya bwakatonda okusembeza bannaggwanga oba abantu abalala mu maka abayinza n’okwongera okuwewula abazadde ku mulimu gw’okugunjjula abaana babwe.

Omusomesa asoose Ssenga Nalugya Joyce Tomusange okuva mu Kibiina ky’Olulimi Oluganda alambise obukulu bwokulabirira omwana. 

Agambye nti okulabirira omwana kutandikira ddala omukyala nga afunye olubuto. Ebyokulya byalya, engeri gyeyebakamu, ate era kikulu okwewala ebiyinza okutataaganya obulamu bwe wamu n’Obwomwana ali munda. 

Omwana nga azaaliddwa, “Nakawere yenna anyigibwa ne ssaaniiko ly’emmere ne bombo kiyamba okuzza omubiri gw’omukyala natayebaayeba naddawo mangu. Nakawere kikulu n’okuwuuta ebijjanjjalo eby’okya okuzaawo omusaayi oguba gumuweddemu nga azaala”. Nalugya bwasomesezza. 

Kyokka wadde okufaayo eri nnakazadde kikulu, agambye nti omwana azaalidwa talina kwerabirwa, ekyogero kikulu, naye kino kkyo kikolebwa mu mitendera. 

Omusomo gw’Abataka ba Jjajja Abataka Ab’Obusolya guli mu lubiri e Mengo.

Gutambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Omubumbirano mu Kukuza omwana”. 

LANGUAGE