Ttabamiruka w’abawala asookedde ddala mu bwakabaka: Basabiddwa obuteetulako
Abavubuka Abawala okuva mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo beetabye mu ttabamiruka w’abawala asookedde ddala mu Buganda.

Ttabamiruka abadde ku mulamwa ogubadde nti “omuwala ateekeddwateekeddwa obulungi ly’essuubi lya Buganda ”.Okuteekateeka kwesigamizibwa ku lugendo omuntu lwaba agenda okutambula.
Okweteekateeka kitegeeza okufuna ebyo ebinaakuyisa mu lugendo olwo. Buganda eyagala omuwala atendekeddwa, ng’aliko ky’asobola okukola.
Ku kwogerako eri abawala abavubuse ku mbuga ya Bulange e Mmengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Abavubuka abawala balina ebibasomooza bingi okusinga abalenzi.

Abawala bafuna embuto nga tebannaba kwetuuka, abavubuka ebitundu 24.3% tebamalaako misomo (okusinziira ku population and housing survey).Abavubuka abawala babeera n’abaana baabwe nga tebaliiko ba kitaabwe.Tulabye n’abavubuka bangi abafuluma eggwanga okunoonya emirimu mu mawanga g’Abawarabu.
Ssaabasajja yasiima n’ateekawo minisitule y’Abakyala n’Ekikula ky’Abantu n’ekigendererwa ky’okusobozesa abakyala (abawala) okufuna eddoboozi erinaabayamba okukyusa obulamu bwabwe.Enteekateeka Nnamutayiika ey’Obwakabaka 2023- 2028 yasoosowaza okusitula embeera z’abavubuka n’abakyala era emirimu gye tukola okubasitula.

Abawala bangi bwe balowooza ku kutandikawo emirimo balowooza ku saluuni oba boutique oba kutunda bizigo oba obuwoowo. Emirmu egyo mirungi naye alima emmwanyi oba alunda ente/embuzi/nkoko asingira wala owa saluuni.
Oweekitiibwa Mayiga akubirizza Abawala okwenyigira mu bukulembeze bw’Obwakabaka ku mitendera egy’enjawulo. Abawala abamu balowooza nti obulungi obwendabika kye kyokka ekibamala.Agamba ensangi zino tuwulira abavubuka abalenzi nga beemulugunya nti obudde buweereddwa nnyo abawala mbu bbo ne babeerabira. Kino kiraga nti enkyukakyuka mu bulamu bwammwe etandise okulabika.

![]()
Ray ID: 8f3a2c1b9d4e5f6a · Performance & security by Cloudflare
site-verification-ok






