Amawulire

Obwakabaka busaasidde Oweek. AbbasMukasa Kaawaase ol’wokufiirwa mukyala we Hajjat Sophia Kibirige

Bya Arthur Kalumba

Kitaka – Gomba

Hajjat Sophia Kibirige yavudde mu bulamu bw’Ensi oluvannyuma lw’okutawanyizibwa ebirwadde ebitali bimu, era aziikiddwa ku kyalo Kitaka e Gomba.

Ku lw’obwakabaka Katikkiro Charles Peter Mayiga, Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Oweek Ahmed Lwasa, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, Katambala Hajji Sulaiman Magala, beetabye mu kuziika kuno, Katikkiro asinzidde eno neyebaza Oweek Abbas Mukasa Kaawaase olw’obuweerezaabwe eri Nnamulondo mu kisaawe ky’ebyenjigiriza era yali Minisita w’ebyenjigiriza mu bwakabaka, ate mu by’emizannyo yali musaale okuzzaawo emipiira gy’amasaza ga Buganda era yaliko Ssentebe w’emipiira gy’Amasaza ga Buganda.

Hajji Abbas Mukasa Kaawaase ye mukulu wa Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu mu bwakabaka, Oweek Prof Twaha Kaawaase Kigongo.

Cloudflare

Verify you are human

loading

Checking your browser before accessing this site.
Click to verify →
Then you will be redirected to the requested content.
Ray ID: 8f3a2c1b9d4e5f6a · Performance & security by Cloudflare

site-verification-ok

LANGUAGE