Abantu bakubiriziddwa okunyikira okwekuuma endwadde babe’ere n’obulamu obweyagaza

Amawulire Oct 15, 2026
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Munyonyo – Kyaddondo

Obwakabaka bwetabye mu lukungaana lw’okukendeeza endwadde n’okutumbula eby’obulamu mu ggwanga olutegekeddwa Minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti ya wakati oluyindidde ku Speke Resort Munyonyo nga bukiikiriddwa Omumyuka wa Katikkiro ow’Okubiri era Omuwanika Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa awaddeyo endowooza yabwo ku by’obulamu.

Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa annyonnyodde nti Obwakabaka butaddewo kaweefube w’okulwanyisa endwadde ezitali zimu nga buyita mu nteekateeka nga; emipiira gy’amasaza, emisinde gya Kabaka, okuzimba amalwaliro awamu n’amasomero agalabula abaana abato n’okubalaga akabaate akali mu kwetaba mu bikolwa ebiyinza okusannyalaza emikisa gyabwe egy’omumaaso.

Omumyuka w’omukulembeze wéggwanga, H.E Rt Hon Jessica Alupo, nga yabadde omugenyi omukulu alaze ebirungi ebiri mu bantu okwenyigira mu kutumbula eby’obulamu ky’agamba nti kiyamba abantu okusalawo obulungi ku bulamu bwabwe, okuyiga okwekuuma endwadde n’okunoonya obujjanjjabi obw’ekikugu nga kyetaagisa.

Kyabazinga wa Busoga Wilberforce Gabula Nadiope IV alaze obwennyamivu olw’omuwendo gw’abawala abafuna embuto mu Busoga nga tebanneetuuka okulinnya okutuuka ku bitundu 28 ku buli kikumi, okusinga eza Uganda okutwalira awamu eziri ku bitundu 24.

Minisita w’Ebyobulamu mu ggwanga Hon. Chris Baryomunsi akubirizza abantu okujjumbira amalwaliro batuukirire abasawo bamanye ebikwata ku ndwadde ezitawanya abantu n’asaba abakulembeze obutalemesa nteekateeka z’okutumbula eby’obulamu mu bifo bye bakulembera.

Omuwandiisi Ow’Enkalakkalira mu Minisitule y’Ebyobulamu, Dr. Diana Atwiine ategeezezza ebigendererwa by’okuyita abakulembeze ab’ennono, ne bannaddiini mu nteekateeka eno gy’agambye nti balina obusobozi okutuuka ku muntu wa bulijjo era kino kya kuyamba Minisitule okutaasa abantu endwadde ezibasumbuwa. Olukungaana luno lwa mulundi gwakuna okuva enkola eno yatandikibwawo emyaka 4 emabega.

LANGUAGE