
Ekitongole kya Ssaabassajja Kabaka ekya NKULUZE TRUST kizeemu omulanga gwa Essuubiryo Zambogo SACCO bwe kiwagidde enteekateeka ey’okugula emigabo egy’ekikungo mu nkola eya Mega Share Purchase Drive mu Butikkiro.
Enteekateeka eno ekulembeddwamu Baker Ssejjengo eyalondebwa okubeera ettaala oba emmunyeenye mu kubunyisa enkola eno awamu n’abakozi abalala okuva mu Essuubiryo Zambogo SACCO.
Omukungu Simon Ssenkaayi ku lwa Nkuluze Trust akoowodde abantu okuwagira enteekateeka y’okugula emigabo n’okusingira ddala abakozi okuva mu kitongole kino.
Nga 7 Museenene 2026 Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga yagenda okukomekkereza enteekateeka eno mu Lubiri e Mengo ku lunaku lw’abavubuka mu Buganda. Katikkiro ajja kukwaasa abo abanaaba basukkulumye ku banaabwe ebbaluwa ezibasiima okuwagira omulanga guno.