Ebitone Bikulu Mu Masomero

Amawulire Oct 03, 2025
Share This

Bya Miiro Shafik

Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda busabye abakulira amasomero okuteeka amaanyi mu kutumbula ebitone mu bayizi nga bwekikolebwa ku misomo gy’omukibiina.

Obubaka buno buvudde mu woofiisi y’Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo abutisse Owek. Hajj Amisi Kakomo amukiikiridde ku Bat Valley Theatre, essomero lya Kakungulu Memorial School bwe libadde lifulumya olutambi olutambi lw’oluyimba ‘Yogaayoga’ olukwata ku matikkira ga Kabaka ate wabaddewo n’omuzannyo gw’abayizi ofwatuumiddwa ‘Malayika Wange’

Mu bubaka buno Prof. Katikkiro asiimye Kakungulu Memorial School olw’okuteeka amaanyi mu kutumbula ebitone by’abayizi era abasabye obutaddiriza ku nsonga eno.Prof. Kaawaase yebazizza abayizi olw’okusoma ebitabo kyokka n’akubirizza okunyiikirira n’ebitone byabwe nabyo babikuse ng’akikaatiriza nti abantu bangi abawangudde mu Nsi eno nga bayita mu bitone ng’okuzannya katemba, okuyimba n’ebirala. Bwatyo abasabye obutazanyisa bitone Katonda by’abawadde kubanga bisobola okubasitula mu biseera eby’omumaaso.

Mu nferi y’emu akubirizza abayizi okubeera n’empisa n’asaba n’abazadde okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe mu kusiga empisa mu baana bafuuke ab’omugaso mu ggwanga obuvunanyizibwa baleme kubulekera basomesa bokka. Akikaatiriza nti empisa zisibuka mu maka.

Ye Owek. Amisi Kakomo atenderezza obubaka obubadde mu muzannyo n’asaba abaana bayigemu ensonga enkulu ya kufaayo okukola ekintu ekituufu mu kiseera ekituufu, bewale embuto nga bakyasoma, bewale ebiragalalagala n’emize emirala egiyinza okubattira ebiseera byabwe eby’omumaaso.

Yebazizza Hajj Buwembo olw’obuweereza mu ssomero lya Kakungulu Memorial ate n’okubeera omuwagizi era omujjumbize mu nteekateeka z’Obwabakabaka. Ono agamba nti essomero likuze okubeera waggulu era ekifaananyi kyalyo kisituse bulungi. Yebazizza abatendeka abaana naddala Male Muusa olw’okutendeka abaana emizannyo, ennyimba n’amazina.

Hajj. Jamir Buwembo ategeezezza nti olunaku luno lukulu nnyo mu byafaayo bya Kakungulu Memorial School kubanga babadde tebateeka nnyo maanyi ku bitone okutuuka ensoma empya lwe yatandika, era ono ategeezezza nti bafuna Mw. Male Musa okubayambako mu nsoma eno.

Hajj Buwembo annyonyodde bategese omuzannyo ogukwata ku mpisa n’enkuza y’abaana okwongera okuwa abaana omukisa okuzuula ebitone byabwe ebisobola okuyambira ddala mu biseera by’omumaaso okufuna ensimbi era bibabeerere emirimu egy’omutwe. Ayongeddeko nti omuzannyo guno guyigiriza n’abaana okwewala emize egisobola okubalemesa okumalako emisomo gyabwe.

LANGUAGE