Bya Gerald Mulindwa
Fort Portal – Tooro
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asaasidde abantu b’Obukama bwa Tooro olw’okuviibwako Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, abadde emunnyenye mu Bukama bw’e n’eri bannayuganda.

Mu Bubaka Omuteregga bwatisse Omulangira David Kintu Wasajja ku Lutikko y’omutukuvu Yowana Kabalole mu Kibuga Fort portal, Ssaabasajja Kabaka era nga ye mukuza w’Omukama Omubuze, agambye nti Omukama abadde ayagala nnyo Obuwangwa n’Ennono, wamu n’Abantu be.
Beene asaasidde nnyo Maama w’Omukama Best Kemigisa, Ababiito n’Ababiitokati, n’abasaba okukozesa akaseera kano beegatte ku lw’obulungi bwa Tooro.

Omukulembeze w’Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni nga akiikiriddwa omumyuuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lw’eggwanga Olukulu Thomas Tayebwa, yebazizza Omukama olw’okufaayo ennyo eri Abantu be, ate n’atabeera muziziko eri nteekateeka za gavumenti.
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Kitaffe mu Katonda Dr Samuel Steven Kaziimba Mugalu nga y’akulembeddemu okusabira Omukama ku Lutikko ya Yowana omutuukirivu asinzidde mu kubuulira n’asaba Abantu ba Tooro bateeke ku bbali ebibaawula byonna, bakulembeze Obumu n’Omukwano.

Omusuuga Charles Kamurasi yeebazizza abantu b’e Tooro olw’okwagala ennyo Obukama bwabwe, kyokka naabasaba okusigala nga bali Bumu.Omusuuga mu ngeri ey’enjawulo yebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’omulimu gw’obukuza bw’Omukama obutaliiko muwendo , kyokka n’alabula bonna abatabula Obukama nti basaaga, era asinzidde ku Lutikko n’alangirira Omukama Omuggya Edward Kijjanangoma.
Omusuuga ayozezza ku mmunye bw’abadde ayogera ku buyinza obwamuweebwa era asabye Omukama Katonda akuume Tooro nga nywevu nga Olwazi.

Maama w’Omukama Best Kemigisa yebazizza abantu b’e Tooro n’Abantu bonna ababakwatiddeko mu kaseera akazibu, kyokka mu ngeri ey’enjawulo ne yeebaza Omusuuga Charles Kamurasi olw’Obuweereza obw’enjawulo eri Obukama.Omumbejja Komuntale Batebe asabye abantu b’Omukama okukitegeera nti embeera y’Obulwadde bw’Omukama Omuhiikirwa Rwomiire Calvin Armstrong yali tagimanyiko, kuba Omukama yali tayagala emanyibwe abantu be babeere ku bunkenke, eby’embi tasobodde kusimattuka.
Omukama aterekeddwa mu kifo omuterekebwa Abakama ba Tooro abakisizza omukono e ky’e Hagasani mu Fort Portal.