
Bya Samuel Stuart Jjingo
Lubiri – Mmengo
Enteekateeka z’okukuza Olunaku lw’Abaana mu Buganda ziwedde era olwa leero olukiiko olutegesi lulambudde ekifo era nerulambulula ku bisuubira ku olunaku luno.
Minisita w’Ekikula ky’Abantu Oweek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo ategezeezza nga Minisitule bwefunye abaana okuva mu masaza ga Buganda 18 nga bano bagenda kuleeta ensonga ezibakwatako zimanyibwe.
Owek. Mayanja akigumizza nti Nnaabagereka Sylvia Nagginda yagenda okubera Omugenyi omukulu ku mukolo guno era gwakuyindira mu Lubiri e Mmengo.

Owek. Nkalubo agamba nti Obwakabaka bulina enteekateeka y’abaana abato egendereddwamu okufuna engeri gyebuyinza okubayambako mu embeera zabwe eza buli olunaku nga kino kiggya kubasiggamu obuvumu nga bayita mu nteekateeka nga eno omuli okutontoma, okukungaanya ebirowoozo n’ebirala.
Ye Ssentebe w’Olukiiko luno Muky. Esther Nakafu akunze amasomero okweyiwa mu bungi mu Lubiri enkya nga Obwakabaka bujjaguza olunaku luno.
Olunaku luno lugenda kukuzibwa wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Eddoobozi ly’abaana lya mugaso mu nkulaakulaana ya Buganda ey’enkya”