
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde abazadde okusomesa abaana Obuwangwa n’empisa okusobola okuzimba Eggwanga ery’enkya erigumidde.
Owek. Mayiga bino abyogedde asisinkanye abayizi n’abasomesa okuva ku ssomero lya Kids and Love Daycare, Kindergarten and Junior School – Bwebajja ku Lwokubiri bwebabadde bazze Embuga okwongera okuyiga ku Buganda.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti omuntu ow’obuvunaanyizibwa azimbibwa kuva mu buto ng’asigibwamu obuntubulamu, empisa n’okwagala olwo bw’akula n’atambulira kw’ebyo era n’agasa Eggwanga lye.
Ono asabye abasomesa okufaayo ennyo ku baana kubanga be babeera n’abaana ekiseera ekiwanvu, ekibawa ekyanya okubabangula ekisaanidde.
“Ebyenjigiriza kikulu nnyo eri omwana era abazadde basaana okukimanya nti okusomesa omwana si kwerekereza oba nti bwannakyewa wabula buvunaanyizibwa buli muzadde bw’ateekwa okukola eri omwana we” Katikkiro Mayiga bw’ agasseeko.

Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko asanyukidde nnyo ensonga y’abaana abato okuleetebwa Embuga okumanya ebyafaayo n’enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo era wano asabye abakulira essomero lino okwongera okunyweza enkolagana eno n’Obwakabaka nga bawagira ensawo ya Kabaka Education Fund, okuwagira Luwalo Lwaffe n’enteekateeka endala.
Omukulu w’essomero lino Omuky. Nakazibwe Faridah Favor ategeezezza nti okukiika Embuga abaana baabwe okwongera okusoma ku Bwakabaka kitambulira mu nnambika gye batambulizaako ebyensoma mu ssomero lyabwe.
Nakazibwe agamba nti tebakoma kusomesa abaana bya mukibiina kyokka wabula basosoowaza nnyo n’okugunjula abaana mu mpisa, eddiini, n’okubamanyisa obuwangwa obw’enjawulo olwo kibayambe okugatta ku ggwanga lyabwe nga bakuze.
Mu nsisinkano eno abayizi baweereddwa omukisa okubuuza ebibuuzo ebikwata ku Bwakabaka, era bino byanuluddwa Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza obuvumu n’obwagazi b’abaana eri okumanya n’okuyiga.
Ensisinkano eno yetabiddwamu ne Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu, Owek. Israel Kazibwe Kitooke.