Katikkiro e Mbale: Alabudde Abantu Obutafeebya Buwangwa Bwabwe

Amawulire Oct 13, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mbale

Obwakabaka bwa Buganda bulabudde abantu babwo abali ebweru wa Buganda obutakkiriza kutwalibwa nnono n’Obuwangwa bw’Abazungu wabula banyweze bye balina.

Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kwogerako eri abavubuka ba Nkobazambogo ab’e Mbale, Teso ne Bukedi ku ssettendekero wa Islamic University Mbale, asabye Abaganda okumanya ekitiibwa n’Amaanyi agali mu buwangwa nga balina kusooka kukulembeza kutaasa Nnamulondo n’okugiwa ekitiibwa.

Owoomumbuga mu ngeri ey’enjawulo asabye abavubuka okugoberera ebifa Embuga nga bakozesa emitimbagano baleme kulimbibwa bannakigwanyizi, abakubirizza okwekwata laadiyo ya Beene CBS, BBS Terefayina n’emikutu gy’Obwakabaka emitongole gye basobola n’okufuna ku mitimbagano ku ssimu zaabwe zi buli wendi nkufuna.

Katikkiro avumiridde abantu abadibya ensonga y’okutuuma amaanya g’ebika ne basalawo kutuuma linnya limu nga abazungu bwe bakola mbu ‘family name’ abasabye n’obutafeebya lulimi luganda, bawe abaana baabwe obusobozi okuluyiga n’agamba nti abaana bangi tebamanyi buwangwa bwabwe kubanga n’olulimi tebalutegeera.

Ye Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek Robert Serwanga Ssalongo asabye abakulembeze b’abavubuka okukozesa obuyivu bwaabwe okukyusa embeera mu bitundu by’ebavaamu.

Akulira ssettendekero wa Islamic University In Uganda ettabi ekkulu ery’e Mbale, Dr. Ismael Ssimbwa Gyagenda yebazizza Ssaabasajja Kabaka ne gavumenti ye ekulemberwa Kamalabyonna n’abantu ba Kabaka olw’obuwagizi obw’enjawulo eri ekisaawe ky’ebyenjigiriza, eby’obulimi, n’obutondebwensi.

Omwami wa Kabaka amukulembererako Essaza ly’e Mbale Oweek Rashid Nsubuga ategeezezza nti abantu ba Kabaka e Mbale, Teso ne Bukedi bajjumbidde nnyo enteekateeka za Ssemunywa ekibawadde amaanyi okuweereza entakera.

Ssentebe wa Nkobazambogo omuwummuze mu bendobendo lye Mbale Teso ne Bukedi Kabuye Kenneth nga asikiziddwa Kakooza Arafat Ssemanda, yebazizza abavubuka ba Buganda abeewaddeyo okukuuma obuwangwa n’ennono za Buganda newankubadde nga bali mu kitundu gye batazaalibwa.

Omukolo guno gwetabiddwaako Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek Isreal Kazibwe Kitooke, abakulembeze ba Ssaabasajja e Busoga, bannankobazambogo mu Uganda yonna n’abantu abalala bangi.

Katikkiro ku ssettendekero wa IUIU asimbyeeko omuti gw’ekijjulizo, omubadde n’okutongoza ekizimbe kya ba yinginiya.

LANGUAGE