
Bya Shafik Miiro
Kampala – Kyaddondo
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga akubirizza abantu abawangaalira ebweru w’eggwanga obuteelabira gyebava basobole okulaakulanyaayo.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde Mbuya mu maka g’omugenzi Owek. Tony Kiyimba Kaggwa, gy’agenze okukubagiza Nnamwandu Eva Kaggwa olw’okufiirwa mutabani we Kaggwa Kimera Kaggwa eyafiira e Australia gyebuvuddeko.
Owek. Mayiga ategeezeza nti omugenzi Kimera Kagwa mu Australia gy’abadde awangaalira abadde mu kibiina ekikumaakuma abantu ba Kabaka ababeera eyo, ekiraga nti bazadde be baamusigamu ensigo y’okutegeera n’okwagala Obuwangwa bwe.
Wano akubirizza abantu ababeera ebweru w’Eggwanga okusigala nga batambulira ku nnono yaabwe bayigirize abaana obuwangwa bwabwe, Ebika byabwe, okwogera Oluganda, n’enteekateeka z’Obwakabaka endala.

Kamalabyonna asaasidde abooluganda lw’omugenzi olw’okuviibwako munnaabwe mu myaka emito, era abasabidde Katonda abagumye n’omugenzi amulamuze kisa.
Nnamwandu Eva Kaggwa yeebazizza Kamalabyonna Mayiga olw’okubaagala era namwebaza olw’omulimu amakula gwakola okulambika abantu ba Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.