Katikkiro Mayiga asisinkanye Minisita wa Eswatini ow’ebyenfuna, baweze okunyweza enkolagana

Bya Gerald Mulindwa

Mbabane – Eswatini

Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Minisita wa Eswatini oweby’enfuna nokuteekerateekera eggwanga, Hon.Tambo Gina, kulwa Ssaabaminisita Dlamini Russell, atabadde mu ggwanga, nebawayamu ku ngeri yokunywezaamu enkolagana y’Obwakabaka ku njuyi zombi.

Ensisinkano eno eyindidde ku Hilton Garden Inn mu kibuga ekikulu Mbabane ku Mmande.

Kamalabyonna Mayiga bano  abategeezezza nti ekigendererwa ky’obugenyi bwaliko kuliko; okulaba abantu ba Kabaka abali Eswatini wamu nokutongoza olukiiko ttabamiruka olugatta abantu ba Kabaka abali mu mawanga ag’enjawulo agali mu maserengeta ga Africa. 

Ono abayitiddemu ku  byafaayo n’ engeri Uganda gyeyatondebwamu n’Obwakabaka engeri gyebwaggyibwawo mu myaka gy’e 60 ssaako n’emirimu Buganda gyekola okuyimirizzaawo abantu baabwo.

Kamalabyonna Mayiga agamba nti enjawulo eri nti obwakabaka bwa Eswatini bwetongodde era omutwe gw’ensi yaabwe ye King Mswati III ate mu Uganda y’ensi eyetongodde ekulemberwa Pulezidenti.

Owek. Mayiga asuubizza okukolagana n’obwakabaka bwa Eswatini mu nsonga z’ennono n’enkulaakulana naddala mu byenjigiriza, eby’obulamu n’ebyenfuna by’abantu okulaba nga bakyuusa embeera zaabwe.

Minisita Tambo Gina abayitidde a ku byafaayo ebitonotono ebyo bwakabaka bwa Eswatini n’engeri gyebaasobola okubukuuma nebutabulira mu South Africa ennene ennyo n’engeri gyebaasobola okwekuuma abazulu abaabalwanyisa ennyo.

Obugenyi bwa Katikkiro Mayiga bwajjidde mukiseera nga  King Mswati III ali mu lusirika era talabika mu bantu nga emirimu gikolebwa Ssaabaminisita eyasangiddwa e Botswana ku mirimu gy’e ggwanga.

Yeebazizza omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Eswatini Oweek. Paul Mulindwa n’omubaka wa Uganda Rt. Honorary Consul Tobias Kamugisha olw’okukola enteekateeka okusisinkana abantu ba Kabaka n’abakungu ba Gavumenti ya King Mswati III.

Ku ludda lw’Obwakabaka ensisinkano yetabiddwamu; Minisita wa Kabaka owa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Owek. Joseph Kawuki, omubaka wa Kabaka mu Eswatini Owek. Paul Mulindwa, Omukungu John Fred Kiyimba Freeman, akulira eby’abagenyi mu bwakabaka, Omuk. David Ntege, Omuwandiisi wa Katikkiro ow’ekyama Muky. Allen Namukasa Kafuluma, ne Muky. Christine Nampijja Kalanzi owa pulotoko.

Ate ku ludda lwa Eswatini Bertram Stewart omuwandiisi omukulu mu Woofiisi ya Ssaabaminisita Dlamini Russell Ruso.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *