Katikkiro Mayiga  gamba kikulu okubangula abakyala kuba tebava ku mulamwa

Amawulire Feb 22, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Bweyogerere – Kyaddondo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga  asabye wabeewo okwongera amaanyi mukubangula abakyala kuba tebatera kuva ku omulamwa era byebakola babiwa obudde okumala n’ okubirowooleza ekireetawo enkulaakulana.

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde Bweyogerere ku centre of excellence e Kira mu Kyaddondo  bw’ abadde yeetabye ku mukolo gw’okujaguza emyaka 30 egya Rotary club ye Bweyogerere Namboole.

Owek. Mayiga  agamba nti abakyala tebawankawanka, mu bwetaavu obuliwo obw’okubangula Ensi kikulu nnyo okubangula omukazi, kubanja bwakuguka ne ggwanga libanguka.

Kino agasseeko  n’abavubuka bayamba nti kikulu okubabangula kubanga eggwanga lyetaaga abavubuka abaliko bye bamanyi, nga  bangi balemererwa okufuna emirimu lwa butaba na Kintu kyonna kye bamanyi okuggyako okwogera erinnya. 

Yebazizza aba Rotary okunywerera kwebyo bya bakkiririzaamu nga badding’ana bye bakola n’abasaba obuteetantala kukyusa biruubirirwa bya Rotary. 

Pulezidenti wa Rotary Clube eno, Micheal Nuwagaba, ayitiddemu Katikkiro emiramwa emikulu ekibiina kyabwe kino kwe kisimbye essira omuli n’okubangula abavubuka mu bye mikono nga okusiba enviri, okufumba, okwokya ebyuma.

Amutegeezezza nti omulimu gw’okuzimba ekizimbe kya Centre of Excellence omunaddukanyizibwa emisomo gino  gusuubirwa okuggwa omwaka guno n’ekigendererwa eky’okubangula abavubuka mu by’emikono mu kitundu kyabwe. 

Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2017 Obwakabaka bwawaayo ettaka eri aba Rotary club ye Bweyogerere Namboole okumpi n’embuga ye Ggombolola Ssaabaddu Kira, basseeko enkulaakulana ey’okubangula abakyala n’abavubuka mu by’emikono era wano weewatereddwa ekizimbe kino 

LANGUAGE