Minisita Kawuki alabudde Abaami ba Kabaka ku  by’obufuzi ebyawulayawula mu bantu

Amawulire Jan 28, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Bulange – Mmengo

Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ez’Ebitundu n’Ensonga z’Ebweru wa Buganda, Owek. Joseph Kawuki asabye Abaami bulijjo okugatta abantu ba Kabaka beewale eby’obufuzi ebibaawulayawula.

Okwogera bino abadde asisinkanye ababaka ba Ssaabasajja Kabaka okuva ebweru wa Buganda mu Uganda awamu n’essaza lye Scandinavia ku Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.

Owek. Kawuki agamba nti ekimu ku nsonga enkulu mu Bwakabaka kwekunyweza obumu bwatyo naasaba Abaami bano okwewala eby’obufuzi n’ensonga zonna eziyinza okutematema mu bantu.

Bano abajjukiza okukola emirimu nga bagyetegekedde nga bayita mu kukola enteekateeka z’omwaka nga zitambulirwako embalirila zaazo kiyambeko okulaga abantu ensimbi zabwe gyezigenda mu kuzimba Obwakabaka.

Owek. Kawuki abakubiriza okunyweza enkiiko z’Amasaza gano ku mitendera gyonna nga abaliko balambikiddwa bulungi eky’okukola nadala okukumakuma abantu ba Kabaka bonna.

Omwami wa Kabaka e Scandinavia, Owek. Nelson Mugenyi agamba nti ensisinkano ebasobozeseza okwanjulira Owek. Joseph Kawuki ebitegekeddwa okukolebwa omwaka guno omuli olusirika lw’abavubuka, olunaku lwa Buganda n’ebirala bingi.

Abaami bano kubaddeko ow’ e Busoga, Ankole, Rwenzori, Mbale, Busia ne Scandinavia nga muno mulimu ensi nga Sweden, Denmark, Norway, Finland ne Iceland.

LANGUAGE