Mubeere Besigwa ku Mirimu Gye Mufuna

Amawulire Oct 20, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Gayaza – Buddu

Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Oweek Noah Kiyimba akubirizza abasomye okubeera n’omugongo mu buli kye bakola nga lwe bajja okuwangula ensi.

Okwogera bino, Owek. Kiyimba asinzidde ku mukolo gwa Nakawuki Kizza Josephine kw’ajaguliza okuwangula diguli mu bukulembeze n’embeera z’abantu mu maka ga bakadde be Mw. Muwanga Godfrey ne Muky. Jacent Namyalo Muwanga e Gayaza, Buddu.

Owek. Noah Kiyimba agamba nti abasomye singa bayimirira ku kituufu n’ebikolwa nga bye bituufu tebayinza kulemererwa nsi kubanga ebeera ebetaaga. Mu ngeri y’emu, Owek. Kiyimba asabye omujaguza Nakawuki okumanya ky’alina okukola mu budde obutuufu kimuwonye okukuluma nti omulimu gw’akola tegumusasula kimala.

Ye Minisita w’Obulimi n’Obulunzi Owek. Hajj Amisi Kakomo naye asinzidde wano n’ategezeza nti abasomye balina okubeera abeesigwa mu mirimu gye bakuguseemu kibayambeko okugaziya enkolagana yabwe n’abantu abalala.

Ate abadde omutambizi omukulu mu kitambiro ky’emmisa Rev. Fr. John Paul Ntambaazi akubirizza abakulistu okwagala abaana baabwe nga bwe beyagala kibayambeko okwekiririzaamu mu nsi eyokukola.

Omukolo guno gwetabiddwamu Oweek. Hajj Amisi Kakomo, Omuwandiisi w’Enkalakalira mu woofiisi ya Katikkiro Omuk. Josephine Nantege Ssemanda, abakungu okuva mu gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka n’abantu abalala.

LANGUAGE