Munyikire okuwandiika ebitabo ebiraga omukululo gwamwe- Katikkiro Mayiga

Amawulire Feb 08, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo 

Nakwero – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Abantu okuwandiika ebitabo ebiraga omukululo gwabwe gusobole okukuumibwa omulungi era n’ abalala basobole okubayigirako.

Obubaka buno Kamalabyonna abuwadde atongoza ekitabo ekyawandiikiddwa Owek. Hajji Hassan Mutaasa Kafeero e Nakwero mu Kyaddondo ku Lwomukaaga nga Kano katuumiddwa Mutaasa Kafeero Journey and his family history of the Abajungute.”

Owek Mayiga yeebaziza Mutaasa Kafeero okutambulira mu nnono eyo eya bajjajja be naddala  Adam Mutaasa nga awereza nga omwami wa Kabaka ate naye akukoze wakati mu buteebalira.

Supreme Mufti  Shaban Ramathan Galabuzi akikatiriza nti obuwandiike kintu kikulu nnyo mubuwangwa  n’ eddiini kuba ebikwate mu mutwe byelabirwa naye ebiwandiike bisigala ebbanga lyonna so ekitabo kinno Mutaasa Kafeero kyawandiise kya muwendo nnyo.

Yebaziza nnyo ba jjaajja ba Mutaasa abagenda mu Ankole naye nebasigala nga Baganda ate abasiraamu wamu ne Mutaasa Kafeero olwokutembeeta ensonga z’obusiramu wamu ne Buganda.

Bw’ abadde ayogerera ku mukolo gumo, Owek Hajji Dr Hassan Mutaasa Kafeero yeebazizza abantu bonna ababaddewo mubulamu bwe kuba kyamagero nnyo ye okuba omulamu ku bisomozo byonna byayisemu.

Ono ategeezezza nti ebitabo kyawandiise kya byafaayo nnyo kuba kikwata ku nsonga ezenkizo ezikwata ku buvvo bwa jjajja we Adam Mutaasa  eyagenda mu Ankole nalekaayo omukululo gwa Buganda wamu n’obusiramu.

Owek. Mutaasa agamba nti jjajja we yatendeka nnyo abantu ba Ankole empisa ze Buganda wamu nenfuga z’Obwakabaka n’abayigiriza Emirimu eyali egy’enkizo mu Bugand

Ono yeebazizza nnyo abantu bonna abamwagadde wamu nabamubererawo mu bisera ebizibu nga alwadde ekirwadde kya lumima mawuggwe ‘COVID 19’.

Kulwa famire muwala wa Mutaasa,Fatumah Nagawa ayogedde ku kitaabwe ng’omusajja ayagala ennyo abaana be ate akola nabo era abawagira mu misomo gyabwe, mumirimu gyebakola gyonna. 

Omukolo gwetabiddwako omumyuka owookubiri owa Katikkiro, omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda wamu nebaminisita ba Kabaka abenjawulo, omukuku we kika kye Nkima Jjaja Mugema, ekibiina kya Baggaga Kwagalana, ekibiina kya Buganda Twezimbe wamu nabagenyi abalala.

LANGUAGE