Bya Musasi Waffe
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde omugenzi Omugenzi Bbaale Maurisio nebutendereza emirimu gyakoledde Obuganda n’ eggwanga.
Obubaka buno, Minisita wa Gavumenti z’ Ebitundu Joseph Kawuki abutisse, Owek. Gertrude Nakalanzi Sebugwawo, amukiikiridde ku mukolo gw’ okuziika Bbaale e Kibanda mu Kooki ku Lwomukaaga.
Minisita Joseph Kawuki atenderezza Omugenzi Bbaale Maurisio olw’okukola n’okwagala, obunyikivu wamu n’okwewayo ekyamuleetera okulengerwa Omutanda n’amuwa obwami bw’Omumyuka wa Ggombolola Musaale Kibanda mu Ssaza Kooki.
Owek. Kawuki asaasidde nnyo Namwandu, bamulekwa wamu n’Omukwanaganya w’emirimu gya Ssaabasajja Kabaka mu Kooki olw’okuviibwako omuntu abadde empagi luwaga mu maka ate ne mu buweereza.
Ye Oweek. Gertrude Nakalanzi Sebugwawo -Omukwanaganya w’emirimu gya Ssaabasajja Kabaka mu Kooki, yeebazizza nnyo Omugenzi Bbaale olw’obumalirivu n’okwagala by’ayolesezza mu kiseera ky’abadde omuweereza wa Beene n’asaba abasigadde naddala abaana be okumulabirako wamu n’okukuuma omukululo gw’alese.
Oweek. Sebugwawo era asabye abantu b’eKooki okusigala nga bawulize eri Beene, okwongera okulima emmwanyi wamu n’okuboola abo bonna abayisa olugaayu mu Nnamulondo ne mu Bwakabaka. Abakalaatidde okusigala nga bajjukira nti Kooki Ssaza lya Buganda era Kabaka wa Buganda y’alitwala.
Omugenzi aziikiddwa ku kyalo Bbaale Kasisa mu Ggombolola Musaale Kibanda mu Ssaza Kooki, nga okuziika kino kwetabiddwako enkumi n’enkumi z’abantu omuli bannabyabufuzi okuva mu bibiina eby’enjawulo, abakungu okuva mu Gavumenti eya wakati wamu ne mu Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka.