
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mbuya – Kyaddondo
Obwakabaka bukubangidde Omulangira Kaggwa Kimera Kagwa eyavudde mu bulamu bw’ensi nebusaasira famire ye olw’eddibu lino.
Obubaka obusiima omugenzi Kamalabyonna Charles Peter Mayiga abutisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule nabusomera abakungubazi abakung’aanidde ku kkanisa ya St. Barnabas Church of Uganda Mbuya.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asasiidde nnyo famire y’omugenzi kati ekulemberwa Maama Evelyn Kaggwa olw’okuvibwaako mutabani waabwe omukulu bwatyo.
Mukuumaddamula Mayiga yeebaziza nnyo Katonda olw’obulamu bwawadde Kimera awamu ne taata we Owek. Tony Kiyimba Kaggwa olw’obuweereza bwe eri Obwakabaka bwa Buganda nga bwavamu ebibala ebirungi ebirabwako.
Omulangira Kaggwa Kimera Kaggwa abadde mutabani w’omugenzi w’eyaliko Omukiise mu Lukiiko lwa Buganda Olukulu, Oweek. Tony Kiyimba Kaggwa, nga abadde awangalira mu ggwanga lya Australia gyamaze emyaka 30.

Omulabirizi we Kampala eyawumula Rt. Rev. Hannington Mutebi bw’abadde abuulira, asabye nnyina w’omugenzi, Evelyn Kaggwa obuteelalikirira olw’okufa kwa mutabani we kubanga ebyawandikibwa biraga nti omuntu alifa naddayo ewateeketeeke mu ggulu.
Okusaba kuno kwetabidwaamu Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga, Nnaalinya Dorothy Nassolo, Nnaalinya Sarah Kagere, Katikkiro eyawummula Owek Mulwanyamuli Ssemwogerere, Hon. Maria Kiwanuka, Omulabirizi eyawumula Rt Rev. Wilberforce Kityo Luwalira, Abambejja n’Abalangira ab’enjawulo, ab’oluganda n’abantu abalala.
