Obwakabaka buzizza omukago gwabwo ne ECOSAVE obuggya

Agafa e Mengo Apr 23, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda buzizza buggya omukago ne kkampuni ECOSAVE okubunyisa enkola y’amasannyalaze agava mu nakavundira ng’enteekateeka eno yaakubunyisibwa mu masaza ga Buganda gonna 18 ng’omu ku kaweefube w’okukuuma obutondebwensi.

Enteekateeka eno yasookera mu ssaza Bulemeezi mwokka, wabula kati yakusaasaanira amasaza gonna aga Buganda nga basomesa abavubuka okufuna obukugu mu nkola ya ‘biogas’ awamu n’okumanya okumutunda.

Amasanyalaze gano agaggyibwa mu nakavundira gayamba okukekkereza ensimbi ezigenda ku kufumba, amataala n’ebirala, era enjiri eno aba Ecosave gye bagezaako okubunyisa mu bantu ba Buganda.

Bw’abadde ateeka omukono ku biwandiiko bino ku lw’Obwakabaka, Minisita wa bulungibwansi obutondebwensi n’ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, agambye nti waliwo obwetaavu obw’okufuna abavubuka abasunsuddwa obulungi kubanga abo abaali baasunsulwa mu kusooka beesuulirayo gwa naggamba ne beerabira obuvunaanyizibwa bwa bwe, era bagenda kuggulawo amatabi mu buli ssaza okwanguyiza bannamukago bano okutuuka ku bantu yonna gye bali. Ono yebazizza aba Ecosave olw’okulwanirira obutondebwensi n’embeera y’obudde nga bweri ennaku zino.

Mw. Banadda Nswa, akulembeddemu enteekateeka eno ku lwa Ecosave, asanyukidde omukago guno ne yeeyama nti baakwongera okussa ettoffaali mu kuyamba abantu ba Buganda okulwanirira obutondebwensi nga beemanyiza okukozesa biogas. Ategeezezza nti mu bitundu gye bayise, abaayo kati basobola okuwa obujulizi ku miganyulo gye bafunye mu kukozesa biogas, okugeza, bagaziyizza ennimiro zaabwe nga bakozesa ekigimusa ekiva mu biogas, bayize okukekkereza amanda, era buno bumu ku bubonero obwoleka nti ekiruubirirwa kyabwe eky’okulwanirira obutondebwensi batandise okukituukako.

LANGUAGE