Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Buli nga 5 Mukulukusabitungotungo Ensi yonna ejaguza olunaku lw’abasomesa ku mitendera gyonna.

Abasomesa mu masomero n’amatendekero g’Obwakabaka beegasse ku Nsi yonna okujaguza olunaku lwabwe, ku mulamwa, Eby’obuwangwa n’Ebyenjigiriza okutumbula amakula g’Obwakabaka.
Omukolo gw’okujaguza gubadde ku Muteesa I Royal University, Kakeeka Mmengo.
Mu bubaka bwe eri abasomesa bano, Minisita w’Ebyenjigiriza n’Enkulaakulana y’Abantu, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, asabye abasomesa banywerere ku nnyingo 4 ez’omulembe omutebi okuli; obuyiiya, obunyiikivu, obwerufu, okukola n’okwagala baleme kuleka buwangwa bwabwe kugwa. Ategeezezza nti teri bya njigiriza bisinga musomesa w’abyo, n’olwekyo abasomesa be bali ku ntikko ya byonna.

Ekiseera ky’ebigezo nga kituuse, abakubirizza okutegeka obulungi abaana mu bwesimbu, obwerufu, beewale okukoppa bye batamanyi.
Munnabyanjigiriza Ssali Damascus, alaze olugendo lweby’enjigiriza gye luvudde n’ategeeza nti okusomesa kusibuka mu lulimi n’obuwangwa bw’atyo n’akubiriza abasomesa okusooka okunnyikiza olulimi lw’abwe.