
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Minisita w’Ekikula ky’Abantu n’Obutondebwensi mu Bwakabaka, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Nasejje akuutidde abazadde okukuuma abaana baabwe n’okubakwasizaako basobole okufuuka abantu ab’omulamwa mu nsi.
Okwogera bino Minisita Nasejje abadde asisinkanye olukiiko oluteesiteesi olw’olunaku lw’Abaana mu Buganda olunabaawo wiiki ejja nga 12 mu Lubiri e Mengo.
Owek. Nkalubo agamba nti abazadde balina okugoberera abaana babwe n’okumanya okusomoozebwa kwebasanga naye nabalabula ku mukwano ogusukiridde eri abaana.
Ono akunze abamasomero okuleeta abaana ku lunaku olwo kubanga waliwo bingi byebajja okuyiga okuva mu boogezi ab’enjawulo.
Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi Esther Nakafu ategeezezza nti bingi ku luno abazadde byebagenda okuganyulwa mu baana baabwe nga bayize basobole okukyuusa obulamu bwabwe.
Nakafu annyonnyodde nti ku lunaku olwo wakubaawo okukubaganya ebiroowozo ku nsonga ezifa ku baana n’ensonga ezibaluma abakwatibwako bazitegeere.
Emikolo gino gisuubirwa okwetabwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda n’amasomero agasoba mu kinaana gaguleeta abayizi okwetaba mu nteekateeka eno.
