Bya James Kaana Ssebuguzi
Kyankwanzi – Ssingo
Minisita w’enkulaakulana y’abantu mu Bwakabaka Owek. Choltilda Nakate Kikomeko asinzidde kyankwanzi mu ssaza Ssingo ku ssomero lya Beatrice Secondary School mu kuggalawo olusiisira lw’ebyenjigiriza olukulungudde ennaku bbiri nga lwategekeddwa ekitongole kye byenjigiriza mu Bwakabaka n’ekigegendererwa ky’okubangula abavubuka abakyali mu masomero naddala abo abali mu bibiina ebyakamalirizo ku mutendera gwa siniya.

Oweek Nakate alaze nti ensiisira z’ebyenjigiriza Obwakabaka buzikuba okutuukiriza ekiragiro kya Nnyininsi eky’okutuusa ebyenjigiriza eby’omulembe ku bantu ba Buganda n’agamba nti Buganda ssi neetegefu kufiirwa muvubuka yadde omu nga n’olwekyo y’ensonga lwaki kisaanidde abavubuka abato okulambikibwa.
Minisita Chotilda era alabudde abayizi abeetabye mu lusiisira luno ku biragalalagala ebisusse mu bavubuka abato bwatyo n’abasaba okubyewalira ddala kubanga biyinza n’okumalawo obulamu bwabwe.
”Baana bange oyinza okukola akantu kamu bwekati k’olowooza nti leero kaneweemu, ne kakugya ku mulamwa obulamu ne bwononeka n’emisomo ne gikulema ebirungi ne bikusubira awo, twewale ebintu nga ebiragalalagala, nsaba mulwane olutalo lw’okusoma mu luveemu nga muli bawanguzi” Minisita Nakate.
Ssentebe w’ekibiina ekitaba abakulira amasomero mu district y’e Kyankwanzi ne Kiboga, Samuel Ssebitebe agamba nti abayizi bangi babeera eyo mu byalo nga tebamanyi kyakuzzaako kyokka bwe bafuna enteekateeka nga zino bafuna obuweereza awatali kuteekamu yadde omunwe gwe nnusu, ne bafuna amagezi agabaggula ebirowoozo ne bakola okufaananako ne bannaabwe abali mu kibuga.
Omumyuka wa Mukwenda Owookubiri Regina Nasseremba nga ye mutandisi w’essomero lya Beatrice Secondary School abaategese olusiisira luno asabye abayizi okutwala ebisomeseddwa mu lusiisira luno nga bikulu ddala babyeyambise okusalawo ku bulamu bwabwe obuddako.

Abayizi abaasobye mu nkumi bbiri (2,000) okuva mu masomero agasobye mu makumi abiri (20) be beetabye mu nteekateeka eno era amatendekero ag’awaggulu agali eyo mu kkumi n’okusoba nga gakulembeddwamu ettendekero lya Ssaabasajja li Muteesa I Royal University ge gabaddewo okufuna okulambikibwa kuno.