Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga ayanjuliddwa Omukulu w’Ekika kya Akasimba omubbulukuse, ng’ono ye Miti Caesar Buyondo, omukolo gubadde mu Bulange e Mengo.

Ku Lwokubiri nga 02 Ssebaaseka 2026, Ekika kya Akasimba kyaggwamu amawulire ag’ennaku Omukulu w’Ekika kino owa 16, Omutaka Miti Ssempuuma David bwe yabula oluvannyuma lw’okuddusibwa mh ddwaliro e Mmengo ng’akubiddwa Puleesa. Oluvannyuma lw’amawulire gano olukiiko lwa Abataka Abakulu b’Obusolya lwassaawo olukiiko okukola ku nteekateeka z’okutereka Omutaka omubuze nga mu zzo mwe muli n’okufuna omubbulukuse.
Katikkiro w’Ekika kya Nnyange, Kato Lutuuma Fenekansi, ye yalondebwa okukulemberamu enteekateeka z’okutereka Omutaka Kabazzi omubuze, era y’akulembeddemu abakiise Embuga okwanjula Omutaka omubbulukuse. Ono ategeezezza nti ensonga zonna okutwaliza awamu zabanguyira era bwe baatandika okutuuza enkiiko, tewaayita kiseera kiwanvu ow’essiga lya Kalidda omuva omutaka mu kika kino yavaayo n’abanjulira omu ku baana b’omubuze nga ye musika wa Kitaawe ow’ekifundikwa. Ategeezezza nti ennono z’Akasimba zonna zaagobereddwa era ab’amasiga bonna ne bakkiriziganya.
Katikkiro w’Ekika kya Akasimba, Lwanga Edward Brown Buyondo, nga bwekiri mu nnono y’ayanjulidde Katikkiro Mayiga Omutaka omubbulukuse Kabazzi Miti Caesar Buyondo gw’agambye nti ye mwana owokusatu mu baana b’omubuze era nga mu mwaka guno ali mu siniya ya kubiri ku Kings College – Buddo. Lwanga yebazizza bonna ababakwatiddeko okulaba nti bakola enteekateeka z’okutereka Jjajja omubuze mu budde. Ategeezezza nti bagenda kulonda abakuza b’Omutaka omuggya.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’amaze okwanjulirwa Omutaka omubbulukuse yebazizza bonna abali mu nteekateeka z’okutereka Omutaka omubuze, gw’agambye nti ng’oggyeko obuvunanyizibwa, babadde bamikwano okumala ekiseera. Asanyukidde enkola zonna ezimwanjuliddwa ezaagobereddwa mu kufuna omutaka omuggya olw’okugoberera ennono entuufu. Akikaatiriza nti, “Obukulu bw’Ekika ssi bwa kwesooka wadde okulwanira wabula bugoberera nnono”.
Kamalabyonna ayanirizza Omutaka omuggya Miti Caesar Buyondo gw’asuubizza okwanjula Embuga ewa Ssaabataka Kabaka, nga ennono bw’erambika. Wano era w’asinzidde n’akubirizza Kabazzi omuggya okulamula bazzukulu be mu mazima n’obwenkanya.
“Tokkirizanga omuntu yenna akwawula ku Ssaabasajja Kabaka, ye Ssaabataka era y’akwawuliza ku buyinza okulamula abantu be, bazzukulu bo abeddira Akasimba” Katikkiro Mayiga alabudde Omutaka Kabazzi ow’e 17.
Owoomumbuga asabye abanaalondebwa nga abakuza eri Omutaka ono akyali omuto okufuba okulaba nti Omutaka ono asoma amaleko okutuuka mu Ssetendekero, bamuyigirize empisa ez’obuntubulamu, obwetowaze, obugumiikiriza, ekisa n’okusonyiwa. Ayongedde okukuutira Omutaka Buyondo nti mu bukulu bw’agenzeemu afube okwagala n’okussa ekitiibwa mu baakulembera, olwo obukulu bujja kumwanguyira.

Ye Omutaka Kabazzi Miti Caesar Buyondo, mu kwogera kwe okusoose oluvannyuma lw’okwanjulwa eri Katikkiro yebazizza Katonda olw’obulqmu bw’awadde Kitaawe ne by’amusobozesezza okukola, yeyanzizza Ssaabataka olw’okulambika obulungi obukulembeze mu Buganda, yebazizza ab’amasiga na bonna abaliko kye bakoze ku nteekateeka z’okuwerekera Kitaawe. Ono asuubiza bazzukulu be obukulembeze obwongera okutwala ekika mu maaso.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala asinzidde wano ne yebaza ab’Ekika ky’Akasimba olw’okubeera ekimu ku bika ebyeteeseteese obulungi, ategeezezza nti tekisangika amasiga gonna mu Kika okuba nti gakkiriziganya nga bwekiri mu masiga gonna 14 agakola Ekika ky’Akasimba.Owek. Wamala atenderezza emirimu Kabazzi omubuze gy’alese akoze mu Kika, bw’ategeezezza nti ono alese enteekateeka nnyingi ezikulaakulanya Ekika, asaasidde ab’Akasimba okuviibwako Omutaka ono, era asabye abakulembeze abasigaddewo mu Kika okukwatizaako Omutaka omuggya kubanga akyali muto.
Omukolo gw’okwanjula Omutaka Miti Caesar Buyondo gwetabiddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Baminisita; Owek. Noah Kiyimba, Owek. Amisi Kakomo, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Ab’amasiga mu Kika kya Akasimba, Abemituba, Abennyiriri, Nnamwandu n’abaana b’Omugenzi, n’abazzukulu abalala.