Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo- Kyaddondo
Ssabbiiti ya Bulungibwansi 2026 mu Buganda etongozeddwa n’omulamwa gw’okusitula omutindo, Ssabbiiti eno etongozeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu katale k’abasuubuzi ka Namirembe Market e Mmengo mu Kyaddondo.

Ow’omumbuga alaze obwennyamivu olw’obuligo obuli mu Baganda ab’ennaku zino olw’okusuulirira obuyonjo obwaliwo emyaka 600 emabega ku mulembe gwa Ssekabaka Tembo, asabye abo abakolera mu butale okusitula omutindo gw’obuyonjo ng’abantu nga bakungaanya kasasiro mu bifo ebituufu.
Katikkiro asabye abasuubuzi abatunda eby’okulya wamu n’ekumasinzizo gonna okwekuumisa ebipipa ebisuulibwamu kasasiro baleke kumumansa buli webasanze nga bamwawula, kino kya kukuuma ebibuga nga biyonjo.

Kammalabyonna akoowodde abazadde okutendeka abaana okuba abayonjo nga bakyali bato, nga babakubiriza okunaaba mu ngalo nga bagenda okulya basobole okukula nga bamanyi omugaso oguli mu buyonjo ekibatangira endwadde eziva ku bukyafu.
Oweekitiibwa Mayiga acoomedde abavubuka abataagala kweyonja n’abawa ekiragiro eky’okusoosowaza obuyonjo okutandikira ku mibiri gyabwe bafune obuvumu okusitula omutindo.

Minisita wa Bulungibwansi, obutondebwensi n’Ekikula ky’Abantu mu Bwakabaka, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja alambuludde egimu ku mirimo egigenda okukolebwa mu sabbiiti ya Bulungibwansi okuli; emisomo ku buyonjo, emisinde gy’okusitula omutindo egitegekeddwa aba Rotary club ye Nakulabye ne Kasubi, okutongoza mayiro ya Bulungibwansi etegekeddwa e Gombe mu Kyaddondo, awonno akoowodde buli muntu okwetaba mu kijaguzo kino.

Ku lw’ekitongole kya Rexba Limited ekiddukanya obutale bwa Kabaka bwonna, Oweek Isaac Mpanga alaze nti balina obuwanguzi obw’enjawulo bwebatuuseeko mu kiseera ekitono ennyo okuva lwe baakwasiba obutale buno nga bayambiddwako Obwakabaka butereevu.
Ono yeyamye ku lwa Rexba nti baakwongera okukola obutaweera okulongoosa embeera z’obutale bwa Kabaka nga batandikira ku buyonjo bwabwo.

Emikolo gy’okujaguza olunaku lwa Bulungibwansi mu Bwakabaka, gyakubeerawo nga 8/10/2026 mu ggombolola ya Ssabawaali Gombe mu Kyaddondo.