Omutaka Ggabunga alabudde Abeerimbika mu bukulembeze bw’Ekika kye Mmamba

Amawulire Oct 11, 2025
Share This

Bya Ssaava Kanyike

Lubaga – Kyaddondo

Omukulu w’Ekika kye Mmamba Namakaka, Ggabunga Mubiru Zziikwa V aweze obutattira ku liiso ensowole zonna ezeerimbika mu nnono z’Ekika kye Mmamba.

Ggabunga okwogera bino asinzidde mu mbuga ye e Kabowa mu ggombolola ya Mutuba VI mukulu wa kibuga mengo Lubaga mu ssaza lye kyaddondo bw’abadde asisinkanye Owoomutuba gwa Wagaana e Kasanje, Sserubidde Thomas ng’ono yali anyagiddwako ekifundikwa kye eky’obwa Wagaana.

Omutaka Ggabunga agamba nti ssi wakumkiriza muntu yenna alonda musika nga tagobereredde nnono bw’erambika. Alagidde Owolunyiriri lwa Ssekimaka okutembeeta Wagaana amwanjule ewa jajja Mulondo atandike emirimu gye ng’enteekateeka z’omutuuza mu butongole bwe zikolebwako.

Ye Katikkiro w’Ekika kye Mmamba Eng. Kyobe Gerald Kaberenge akinoganyiza nga obusika bwe butambulira mu nnono so ssi kw’abo abeerimbika oba abagwenyiza nti ayagala y’atuula mu ntebe oba yafuna ekifundikwa.

Ye Jjajja Owoomutuba gwa Wagaana Sserubidde Thomas agamba nti atunuulidde nnyo okutuukiriza obuvunanyizibwa bwe nga Wagaana okulaba nga emirimu ku Mutuba gitambula bulungi olwo n’Ekika kyongere okutinta. Akubiriza bazzukulu be mu mutuba gwa Wagaana okukulembeza obumu olwo lwe bajja okutuuka ku buwanguzi.

LANGUAGE