Minisita Kiyimba Asabye Gavumenti Okuwa Bannansi ‘Internet’ Ku Bwererere

Amawulire May 10, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Namusera – Busiro

Minisita w’Olukiiko, Kabineeti, Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Oweek Noah Kiyimba yetabye ku mukolo gw’amatikkira g’abayizi ku ttendekero lya Quantum RTF Training Institute e Namusera mu Busiro

Minisita Kiyimba eno gy’asinzidde n’asaba gavumenti okukendeeza ku miwendo gya yintanenti kwosa n’okugibunyisa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo kiyambeko bannansi naddala abavubuka okuganyulwa mu mirimu egyetagisa omutimbagano.

“Ku mulembe guno ogujjudde ebya tekinologiya, abantu bangi emirimu bagikolera ku mitimbagano, ebbeeyi ya yintanenti bw’ekendeera emirimu gya kwongera okugondera bannayuganda mu kunonyereza ku bintu ebibayamba wamu n’Eggwanga” Minisita Kiyimba.

Owek. Noah Kiyimba

Owek. Kiyimba yebazizza omutandisi w’ettendekero lino Hajj Abu Kawenja olw’okusembeza enkulakulana mu kitundu gy’abeera ate n’akulembeza enkozesa ya tekinologiya mu ssomero lye. Ayongeddeko nti omusomesa asobola okusinziira buli wantu wonna n’asomesa abayizi mu kibiina oba ewaka, kyokka nti kikulu nnyo abantu bwe bateeka enkulaakulana mu bifo gye babeera oba gye basibuka.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Hon. Matia Lwanga Bwanika asabye gavumenti okwongera okuwagira ensonga z’ebyemikono nga ejja emisolo ku matendekero agabisomesa, okugasobozesa okuyamba ku baana b’eggwanga okufuna obukugu, olwo abavubuka basobole okwetandikirawo emirimu.

Hajj. Abu Kawenja

Hajj Abu Kawenja omukozi ku Leediyo CBS ate nga ye mutandisi w’ettendekero lino, agamba nti bannayuganda bangi abakyalemereddwa okutegeera enkozesa y’omutimbagano bandisigalira emabega kubanga ensi edduka misinde. Ono agamba nti abo abategedde obukulu bw’emitimbagano na butya bwe bagikozesa obulungi, bajja kuwangula mu Nsi.

Amatikkira gano ku ssomero lino ga mulundi gwa mukaaga era ng’abayizi bangi abayise mu ttendekero lino bafuuse ba nsonga ddala mu ggwanga. Wano wabaddewo n’okuwa ebirabo eri abo abaayitako mu ssomero lino nga kati bafuuse ba nsonga mu Ggwanga. Ebirabo biwanguddwa; Patrick Kateregga amanyiddwa nga “Chief Depato”, Ddungu Hussein, Mutendwa Faluk, Nakato Jennifer Lwentale, Henry Sserunjogi Katula ne Namaganda Eva.

LANGUAGE