Haruna Kasolo Akiise Embuga: Katikkiro Mayiga Alabudde ku Kalulu

Amawulire Aug 05, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo – Kyaddondo

Minisita Omubeezi ow’Ebyensimbi n’obweggasi mu Uganda Hon. Haruna Kyeyune Kasolo akiise Embuga mu Bulange e Mmengo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’abadde ayogerako eri Kasolo n’abamuwerekeddeko asabye bannayuganda okwettanira obukulembeze kyokka n’abasaba okwetegereza ababwegwanyiza balonde abo abawa Kabaka ekitiibwa era abasoosowaza ssemasonga ettaano eza Buganda.

Katikkiro yebazizza Kasolo okuvaayo okuvuganya ku bukulembeze buno kyokka amutegeezezza nti Obwakabaka bwagala abakulembeze abatuukirwako ku nsonga ez’enjawulo eza Buganda ate nga bazitegeera bulungi era akikaatitirizza nti omukulembeze omulungi y’oyo ategeera ensonga z’abantu be n’ekitundu ky’akulembera oba ky’akiikirira.

Minisita Haruna Kyeyune Kasolo agamba nti nga ekibiina ki NRM kirina obukulembeze obw’enjawulo nga muno mwe muli n’akakiiko ak’okuntikko mu kibiina, era agamba nti ayagala Buganda ebeere nga ekiikiriddwa bulungi ku kakiiko kano okusobola okuganyulwa mu nsonga z’eggwanga ez’enjawulo.

Minisita annyonnyodde nti azze afune obuwabuzi okuva mu Bwakabaka okulaba nga ensonga azitambuza bulungi nga yesigamye ku mikisa egiva mu Bwakabaka.

Ye Hajji Abdul Nadduli, eyaliko Minisita wa guno na guli mu gavumenti eyawakati asinzidde wano n’ayogera ku Minisita Kasolo engeri gye bazze bamukuzaamu mu kibiina kino bwatyo n’ategeeza nga bamulinamu obwesigwa obungi okutuusa ensonga za Buganda.

Bannakibiina ki NRM bali mu kwetegekera akalulu ka CEC nga kano kakutandika nga ennaku z’omwezi 22-28 omwezi guno. Minisita Kasolo awerekeddwako mukyala we Aisha Biyinzika Kasolo, Hajji Abdul Nadduli wamu n’abakulembeze abalala okuva mu kibiina ki NRM.

LANGUAGE